TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nnakawere alemeddwa okusasula 5,000/- abasawo ne bamuleka n'afa

Nnakawere alemeddwa okusasula 5,000/- abasawo ne bamuleka n'afa

Added 7th February 2017

Angel Nansubuga bwe yafuna olubuto olwokusatu, yasalawo eddagala alinywere mu ddwaaliro Ekkulu erya Gavumenti e Mityana, ng’agamba nti mu malwaliro amalala teri bujjanjabi.

 Nansubuga eyafudde. Ku ddyo, abatuuze nga beekalakaasizza mu ddwaaliro.

Nansubuga eyafudde. Ku ddyo, abatuuze nga beekalakaasizza mu ddwaaliro.

Nansubuga yazadde bulungi kyokka omusaayi ne gumuvaamu mungi abasawo ne basaba bba asasule 5,000/- afune obujjanjabi.

Ebyembi, bba agamba nti yabadde ekiro ekyo tatambudde na ssente era yagenze okuzifuna enkeera , mukazi we yasanze afudde!

Eyo y’engeri Nansubuga gye yafuddemu ku Mmande ku makya mu ddwaaliro Ekkulu erya Gavumenti e Mityana.

Steven Kakumba bba w’omugenzi alumiriza nti yeegayiridde abasawo bakole ku mukazi we, abawe ssente enkeera ne bagaana nga bagamba nti alina kusooka kubakwasa ssente ne balyoka bamukolako.

Mu bwangu ddala, abasawo abaabaddewo baalagidde Kakumba atwaleomulambo gwa mukazi we era teyaweereddwa bbaluwa okuva mu ddwaaliro.

Wabula oluvannyuma waliwo ebbaluwa eyalabiddwaako nga eraga enfa y’omugenzi.

Okusinziira ku bbaluwa eno okufa kw’omugenzi, kwavudde ku kuvaamu musaayi omungi.

BALUMBYE EDDWAALIRO

Kakumba ne mukazi we omugenzi babadde batuuze b’e Baamunanika okumpi n’ekibuga Mityana era omugenzi olwafudde abatuuze ne beekalakaasa ne balumba eddwaaliro.

Abamu baabadde bakutte ebipande ebigamba nti, “Abasawo bagobwe” ebirala nga bigamba nti Gavumenti ebayambe ku bujjanjabi n’abasawo.

Baatandise okwekalakaasa nga bali 10 bokka ne beetooloola ekibuga. Baagenze okutuuka mu waadi y’abazadde nga basukka 100.

Meeya wa Central Ward, Fred Wonova olwatuuse yanoonyezza abakulira eddwaaliro olwo ne batuula mu lukiiko olw’amangu kyokka ng’abatuuze baasigadde banoonya abasawo mu ddwaaliro nga teli n’omu gwe balaba.

Omubaka wa Pulezidenti e Mityana, Yahaya Kakooza, ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana Joseph Luzige, omuduumizi wa poliisi e Mityana, Emmanuel Mafundo be bamu ku baayitiddwa.

DPC Mafundo yayise akulira okunooyereza ku buzzi bw’emisango, Alla Twishima nga baagala okumanya ekyabadde kigguddewo.

Olukiiko nga lutandika, Luzige yavudde mu mbeera n’abuuza lwaki abakulira eddwaaliro tebaliiwo, n’alagira bayitibwe.

Mu bwangu akulira bambega ba poliisi Allan Twishima yalagidde omusawo eyabadde ku mulimu n’asaba ssente ayitibwe mu bwangu era ono n’aleetebwa.

Bamubuuzizza oba nga ddala yakikoze n’akkiriza.

ENO Y’ENKOLA YAFFE

Deborah Nakya, omusawo agambibwa nti ye yasabye ssente olwabuuziddwa oba yakikoze yakkirizza nti yakikoze n’agamba nti eno y’enkola yaabwe.

Yagambye nti ekiro bakola beekuumisa obuntu obutono obuyamba abalwadde era okukakuwa omuntu oluusi bakugamba n’ogula akalala, okuyamba omulwadde omulala.

Bino yabadde tannaba kubimalayo, ssentebe Luzige n’abuuza abapoliisi oba babitegeera era wano Twishima n’agamba nti omusawo bye yayogedde agenda kubissa mu buwandiike.

Abasawo abalala baategeezezza abakulembe ba disitulikiti nti eddagala tebalirina mu ddwaaliro kyokka abatuuze balowooza nti we liri.

Baalagidde abakulira eddwaaliro balage eddagala eriyingira n’engeri gyerikozesebwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...