TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi egudde mu lukwe lw'ababbi e Kamwokya: 3 bakubiddwa amasasi

Poliisi egudde mu lukwe lw'ababbi e Kamwokya: 3 bakubiddwa amasasi

Added 9th February 2017

Poliisi ewanyisiganyizza amasasi n'abazigu ababadde baluse olukwe okubba ensimbi ku ssundiro ly'amafuta erya City Oil e Kamwokya.

 Mmotoka ekika kya Noah abazigu mwe babadde batambulira. Babadde balumbye essundiro ly'amafuta erya City Oil e Kamwokya. EBIFAANANYI BYA  HENRY KASOMOKO

Mmotoka ekika kya Noah abazigu mwe babadde batambulira. Babadde balumbye essundiro ly'amafuta erya City Oil e Kamwokya. EBIFAANANYI BYA HENRY KASOMOKO

BYA Ashraf S. Kasirye ne Henry Kasomoko             

Poliisi ewanyisiganyizza amasasi n'abazigu ababadde baluse olukwe okubba ensimbi ku ssundiro ly'amafuta erya City Oil e Kamwokya. 

Omwogezi wa polisi mu Kampala n'emiraano, Emirian Kayima, ategeezezza nti Poliisi ya Flying Squad yagudde mu lukwe lw'abazigu bano ababadde batambulira mu mmotoka ekika kya Noah, nnamba UAJ 586Q n'ebalondoola okutuuka ku ssundiro ly'amafuta kyokka bw'egezezzaako okubakwata ne baggyayo emmundu ne bawanyisiganya amasasi era mu kavuvung'ano ne gakuba abantu ne baddusibwa mu ddwaaliro nga bataawa.

Abapoliisi nga beetegereza embeera mu kifo amasasi we ganyookedde

Kayima ategeezezza nti omukozi w'essundiro lino ategeerekeseeko erya Lumanyika y'omu ku baddusiddwa mu ddwaaliro lya Case Clinic ku Buganda Road ng'ali mu mbeera mbi kuba essasi limukubiddwa mu lubuto.

Omuserikale wa Flying Squad naye akubiddwa essasi wamu n'omubbi, Tony Nnume ng'ono essasi limukutte mu kugulu. 

Essundiro ly'amafuta erya City Oil e Kamwokya, abazigu we babadde balumbye okubba

Kayima agambye nti bakutte abantu 6 abateeberezebwa okuba ababbi wamu n'emmundu emu, n'ayongerako nti bakyekebejja emmotoka ababbi gye babadde batambulira ng'eno ababbi baagikuddeko nnamba puleeti y'omu maaso n'emabega. 

Omukuumi ayogedde

Omu ku bakuumi b'essundiro lino, Charles Osieli agambye nti ababbi bano baamulumba dda ne bamubagulizaako nti bagenda kuggya babbe  ku ssundiro lya City Oil era ne bamusaba akolagane nabo n'abawuddiisa n'akkirizza kyokka ensonga n'azitegeeza ku bakamaabe nabo ne babaguliza ku Poliisi ya Flying era obwedda ebalinnya akagere. 

Abakuumi nga babunye emiwabo

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...