TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Obuwumbi 2,182 ezaava mu mafuta zibuliddwaako kye zaakola!

Obuwumbi 2,182 ezaava mu mafuta zibuliddwaako kye zaakola!

Added 21st February 2017

BBANKA enkulu eyanjulidde Palamenti ensimbi zonna Gavumenti ze yaakafuna mu ddiiru z’amafuta okuva mu 2010.

 Kkampuni nga zisima amafuta e Bunyoro

Kkampuni nga zisima amafuta e Bunyoro

Ebiwandiiko Gavana wa Bbanka Enkulu, Polof. Emmanuel Tumusiime Mutebile bye yatutte mu Palamenti byalaze nti Gavumenti yaakafuna doola obukadde 696 kyokka mu kiseera kino erinawo doola obukadde 72 n’emitwalo 56 zokka ku akawunti.

Doola obukadde 696 Gavumenti ze yaakafuna mu mafuta zibalirirwamu ssente za Uganda obuwumbi 2,436, n’obukadde 211 wabula eziri ku akawunti zibalirirwamu eza Uganda obuwumbi 253 n’obukadde 976.

Kino kitegeeza nti ensimbi ezisoba mu buwumbi 2,182 Gavumenti ezisaasaanyizza mu bintu ebitamanyiddwa mu myaka omusanvu egiyise. Ssente ezo, Polof. Mutebile yagambye nti Gavumenti ezze ezifuna okuva mu 2010 okuva mu misolo ku magoba amakampuni agali mu by’amafuta ga Uganda gye gakola n’endala ezitali za misolo.

Ebiwandiiko bino, Mutebile bye yayanjulidde akakiiko akabuuliriza ku buwumbi omukaaga, abakungu ba Gavumenti 42 ze beegabanya ng’akasiimo Pulezidenti Museveni ke yabawa oluvannyuma lw’okuwangula omusango mu kkooti e Bungereza Gavumenti gwe yawawaabira kkampuni ya Heritage Mutebile yalaze nti ensimbi Uganda ze yasooka okuyingiza mu by’amafuta zaali ddoola 121,477,500 nga yazifuna nga August 4, 2010 okuva mu kkampuni ya Heritage Oil and Gas Ltd.

Ssente gavumenti ze yaddako okufuna zaali ddoola 313,447,500 ze yafuna nga April 7, 2011 okuva ku kkampuni ya Tullow oil Plc.

Kkampuni ya Tullow Oil Plc era yaddamu okusasula Gavumenti doola 14,500,000 nga April 11, 2011 nga zaali za musolo ogwa ‘Stump duty.’

Waliwo ne doola 171,157,650 Gavumenti ze yafuna wakati wa February ne March 2012 okuva mu kkampuni ya Total ne CNOOC nga zaali za misolo kkampuni ezo gye zaasasula mu URA.

Nga November 30, 2015, Gavumenti yafuna doola 36,058,501 okuva mu kkampuni ya Tullow Oil Plc n’endala doola 36,058,501 kkampuni y’emu n’ezisasula Gavumenti nga July 1, 2016.

Mutebile yategeezezza nti mu kiseera kino akawuntI ey’ensawo y’amafuta eyitibwa Petroleum Fund eriko doola 72,564,842 wamu ne ssente eza siringi ya Uganda 10,003,386,387/- (obuwumbi 10).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...