TOP

Ababaka batadde amyuka Kayihura ku nninga

Added 21st February 2017

ABABAKA ba Palamenti abatuula ku kakiiko ke by’okwerinda batadde ku nninga amyuka Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga, DIGP Okoth Ochola annyonnyole ku mbeera eri mu nkambi za poliisi ezaasalwako amazzi alage ne kye bakozeewo.

 Abakungu ba poliisi nga bali mu kakiiko ka Palamenti ak'eby'okwerinda. EKIFAANANYI: KIZITO MUSOKE

Abakungu ba poliisi nga bali mu kakiiko ka Palamenti ak'eby'okwerinda. EKIFAANANYI: KIZITO MUSOKE

Muwanga Kivumbi (Butambala) asabye Ochola atangaaze lwaki balese abasirikale ba poliisi okubonaabona nga tebalina mazzi, olw’okuba baalemererwa okusasula ekitongole ky'amazzi ne kibasalako.

Mubarak Munyagwa (Kawempe South) yategeezezza nga bwe yawulira omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi ng’akudaalira abapoliisi nti ka balabe kuba amazzi bagakozesa bubi.

Ochola yagambye nti enkambi ezaasalwako za mu Kampala mwokka, nga mu kiseera kino bakekkereza amatono ge balina nga bwe bakola ku kizibu kino.

Ku kya Kaweesi yategeezezza nga bw'atalina kyakimanyiiko kuba teyamuwulira. Kyokka yategeezezza nti bw’aba bwe yayogera ekyo tekyali kya bwenkanya.

Abakungu ba poliisi baleese ennongoosereza mu tteeka erifuga obutujju mwe baagalira Minisita w'ensonga z’omunda mu ggwanga aweebwe obuyinza okukwata omuntu gw'aba ateeberezebwa okuba omutujju.

Kyokka kino kiwakanyiziddwa nnyo Muwanga Kivumbi (Butambala) ne Odonga Otto (Aruu County).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...