TOP

'Paasita yandagidde nzigyemu akawale anzijanjabe'

Added 21st February 2017

POLIISI y’e Bugoloobi ekutte Paasita agambibwa okufera abantu ng’abalimbalimba bw’agenda okubawonya ebirwadde n’abambulamu engoye.

 Atim eyabadde agenze okufuna obuyambi. Masinde (ku ddyo) ng’atwalibwa poliisi.

Atim eyabadde agenze okufuna obuyambi. Masinde (ku ddyo) ng’atwalibwa poliisi.

POLIISI y’e Bugoloobi ekutte Paasita agambibwa okufera abantu ng’abalimbalimba bw’agenda okubawonya ebirwadde n’abambulamu engoye.

George William Masinde obufere abadde abukolera mu kayumba akasangibwa e Bugoloobi ku Paragon nga yeefuula okuba ng’ava mu kkanisa ya New Convenant Church erina ettabi e Kibuli.

Grace Atim omu ku bawala abagambibwa okuferebwa Masinde yagambye nti abadde alina ebintu ebibadde bimulumba ne bimuyisa bubi.

Annyonnyola nti ku Lwokusatu waliwo mukwano gwa maama we eyabalagirira omwami ono n’abategeeza nti awonya endwadde eza buli kika era n’abawa essimu ye.

Baamukubira n’abategeeza nti ali Tororo wabula n’abagamba bamusindikire emitwalo mukaaga agulemu ebintu by’anaakozesa okumujjanjaba omuli akabaani n’ebirala era ne bazimusindikira.

Yabagamba abasisinkane e Bugoloobi ku Paragon ku ssaawa 5:00 ez’oku makya ,era zaali ziwera essaawa 6:00 yatuuka n’asooka alya emmere.

Atim yagambye nti yabatwala mu nnyumba ye esangibwa e Bugoloobi ku Paragon n’alagira omu ku bavubuka b’akola nabo okufumba amazzi mbu ge yali agenda okukozesa okumujjanjaba. Yamulagira okuggyamu bbulawuzi n’akwata akatambaala n’atandika okukayisa ku mubiri gwe era n’amugamba nga bw’amuggyeemu eccupa n’amayinja.

Atim agamba nti yamulagidde okugenda ku buliri bwe era naye n’akikola n’amulagira aggyemu akawale ke ok’omunda era ng’akozesa omumwa gwe yaguyisizza mu bitundu bye eby’ekyama n’amugamba nga bw’amuggyeemu ejjirita.

Yalagidde maama we Mary Akello okumwongerayo emitwalo 10 naye ne bamuwa emitwalo munaana.

Yamugaanyi okuddayo awaka n’amulagira asigale mu nnyumba ye ng’eno gy’abadde amusiigira ebintu by’ayita amafuta omubiri gwonna ng’ali bwereere.

Masinde ebyamwogeddwaako yabyegaanyi n’agamba nti ye mwoyo mutukirivu yamulabikira ng’awonya endwadde mu bantu ng’ayita mu nkola ez’enjawulo.

Akulira poliisi y’e Bugoolobi Albert Asiimwe yagambye nti omusajja ono baamugguddeko omusango gw’okutuusa ku muntu obulabe nga guli ku fayiro SD: 21/16/02/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...