TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkuba erese ab'e Lwengo bafumbya miyagi: Amaka 400 n'ebyalo 60 biri mu bbanga

Enkuba erese ab'e Lwengo bafumbya miyagi: Amaka 400 n'ebyalo 60 biri mu bbanga

Added 23rd February 2017

Abatuuze abasoba mu 400 ku byalo 16 mu ggombolola y’e Kyazanga e Lwengo be bali mu kusattira olw’amayumba gaabwe kibuyaga okugaleka ku ttaka so nga n’emiti mwe bandibadde beewogoma nagyo kibuyaga teyagitalizza.

 Abantu nga beetegereza ennyumba kibuyaga gye yatikkuddeko akasolya n'okuyiwa ebisenge. EBIFAANANYI BYA FLORENCE TUMUPENDE

Abantu nga beetegereza ennyumba kibuyaga gye yatikkuddeko akasolya n'okuyiwa ebisenge. EBIFAANANYI BYA FLORENCE TUMUPENDE

NNAMUTIKWA w’enkuba eyafudembye akawungeezi k’eggulo ku Lwokusatu ng’alimu omuzira ne kibuyaga alese ab'e Lwengo bafumbya miyagi.

Ebyalo ebikoseddwa kuliko Kikanika, Kaamiti, Nakalago, Birunuma, Kasambya, Kisaana, Kaamiti, Kakuuto, Busumbi Buyingo, Kitongole, Kasaali, Lusaka, Kiteredde, Kitwe, neKyanjovu nga byonna bisangibwa mu ggombolola y’e Kyazanga.

Abamu ku banannyini mayumba agayonoonese kuliko; Nnamwandu
Merida Komukama 60, Yubu Tulyasingula 42, Wilson Mwebaze 40, Elivaida Binesente 65 n'abalala bangi.

Ebintu by'omu mayumba omuli ttivvi, ebitanda, emifaliso,amasowaani n’ebitabo by'abayizi enkuba yabyonoonye.

Ate eberime okuli; ebitooke, ennyaanya, lumonde, muwogo, n’obutunda kibuyaga n'omuzira gyabigoyezza.

Abatuuze  balaajanidde Gavumenti ebayambe mu mbeera gye balimu kati.

Nnamwandu Kobusingye ng'ali ne bamulwekwa abasula mu kyangala kati
 
Robert Kalule, atwala eggombolola y'e Kyazanga nga yeetegereza omu ku baana abaakubiddwa amafunfugu

 

 

Abatuuze nga balaga akasolya k'ennyumba akaatikkuddwa kibuyaga

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....