TOP

Akalulu akakuzzaayo e Dubai katandika leero

Added 27th February 2017

Abalabi ba Bukedde Ttivvi bakubiddwa enkata akazannyo mwe bagenda okuyita okuwangula tikiti z’ennyonyi okugenda e Dubai katandise leero (Mmande).

 Kuyoh (ku ddyo) ne Mohammad Al Attar maneja wa Emirates mu Uganda.

Kuyoh (ku ddyo) ne Mohammad Al Attar maneja wa Emirates mu Uganda.

Keith Kuyoh kitunzi w'ekitongole kya ttivvi mu kkampuni ya Vision Group agamba akazannyo kano katuumiddwa ‘Tukuzzaayo e Dubai’ kateekeddwaawo Bukedde Ttivvi wamu ne kkampuni y’ennyonyi eya Emirates n’ekigendererwa okuddiza ku bantu abamaze ebbanga nga babawagira.

“Bukedde Ttivvi tuzze tutegeka obululu n’obuzannyo obw’enjawulo mwe tuyita okugabira abalabi baffe ebirabo naye ku mulundi guno tulowoozezza ku kirabo ekinene y’ensonga lwaki twasazeewo okukwatagana n’aba Emirates tubatwale e Dubai okuwummulako”, Kuyoh bwe yannyonnyodde.

Akazannyo kano kagenda kuyindira wiiki ssatu oluvannyuma bannamukisa babiri bagenda kulondebwa bawangule tikiti z’ennyonyi kyokka waliwo n’omukisa okuwangula emigyozi (original) egya ttiimu y’omupiira eya Arsenal buli wiiki.

AMATEEKA AGALI MU ka zannyo ;

1 Okwetaba mu kazannyo kano olina okuba n’emyaka 25 okudda waggulu.

2 Oteekeddwa okuba ne pass-port nga tennaggwaako.

3 Olina okuba omwetegefu okwesasulira ssente za viza kubanga Bukedde Ttivvi ne Emirates bagenda kukola gwa kukutuusa e Dubai, okukulabirira n’okusuuza.

ENGERI Y’OKUWANGULA;

Genda mu ssimu yo w’oweerereza obubaka, wandiika ekigambo ‘Emirates’ lekawo akabanga, teekamu amannya go, oweereze ku 8338. Oluvannyuma bagenda kukusindikira ebibuuzo ku ssimu yo by’olina okuddamu mu butuufu.

Ng’oddamu ebibuuzo bino tandisa ekigambo Emirates ozzeeko ‘ansa’ entuufu. Ababiri abanaasinga okuddamu ebibuuzo ebingi mu bu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...