TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nantaba atabukidde Namuganza: Ensonga zigenze mu kabineeti

Nantaba atabukidde Namuganza: Ensonga zigenze mu kabineeti

Added 28th February 2017

Nantaba yalengezezza Namuganza bwe yagambye nti, ‘Omuntu eyeeyita Minisita atasobola kukubiriza nkiiko mu ngeri ya kigunjufu asaana kubeera Ssentebe wa LC I.”

 Namuganza ne Nantaba abali ku mbiranye

Namuganza ne Nantaba abali ku mbiranye

Yagambye nti talina ky’atidde ne bwe kuba kutwalibwa mu kkooti kubanga yatwalibwayo dda n’agattako nti abantu bangi balina ebibaluma naddala ku nsonga z’ettaka, kyokka kimalamu amaanyi ate abandibayambye ku bizibu ebyo bwe basangibwa nga bali mu kkobaane n’abagagga abanyigiriza abantu baabulijjo.

Kiddiridde okuwaanyisiganya ebisongovu wakati wa Aidah Erios Nantaba ne Minisita munne omubeezi ow’eby’ettaka, Persis Namuganza.

Nantaba ye yasooka mu kifo ekirimu Namuganza kyokka kati ye Minisita omubeezi owa kompyuta ne tekinologiya.

EKYABADDE MU LUKIIKO BAMINISITA MWE BAAYOMBEDDE

Minisita Namuganza ye yabadde akubiriza olukiiko olwayitiddwa Minisita omujjuvu ow’ettaka, Betty Amongi okusalira awamu amagezi n’ababaka ba Palamenti abava mu Buganda ku nsonga z’ettaka era lwetabiddwaamu n’abaakakiiko k’ettaka Pulezidenti Museveni ke yalayizza wiiki ewedde.

Obwedda buli atuuka nga Namuganza amwanjula, kyokka Nantaba bwe yatuuse teyamwanjudde ate abazze oluvannyuma nabo n’abanjula!

Nantaba bwe yawanise omukono okwogera, Namuganza n’amulabulirawo ayite mu bufunze, nti obudde bwabadde bubaweddeko ate nga baabadde balina okugenda ku Palamenti mu lutuula lw’okukungubagira omubaka wa Moroto akawungeezi k’Olwokutaano.

Namuganza yalagidde Nantaba awumbewumbe mu ddakiika emu kyokka Nantaba yavudde buvi mu mbeera n’alumba Namuganza obutassa kitiibwa mu Baminisita bw’atyo n’asigala ng’agenda mu maaso n’okwogera ng’attottola akaseera akazibu ke yayitamu ng’akyali Minisita omubeezi ow’ebyettaka nti yasimattukira watono okuttibwa ababbi b’ettaka omuli Bannamagye, Baminisita n’abamu ku babaka ba Palamenti.

Wano Namuganza kwe kumulagira alekere awo okwogera kuba yabadde atandise n’okulebula abantu. Kyokka Nantaba yeeremye wakati mu kusaakaanya okw’ababaka abava mu Buganda abaakulembeddwaamu Betty Nambooze.

Nambooze n’ababaka abalala baavudde mu mbeera ne bambalira Namuganza nti okukuba Nantaba ku nsolobotto yabadde ayolese jjoogo kubanga gwe yabadde asirisa mukulu munne ate n’ensonga ze yabadde ayogerako ntuufu.

Nantaba yalengezezza Namuganza bwe yagambye nti, ‘Omuntu eyeeyita Minisita atasobola kukubiriza nkiiko mu ngeri ya kigunjufu asaana kubeera Ssentebe wa LC I.”

Oluvannyuma Nantaba yawaddeyo akazindaalo nga bwe yeenyinyimbwa era ababaka okwabadde ne Nambooze beekandazze ne bava mu lukiiko olwabadde ku Hotel Africana ekyawalirizza Minisita w’ebyettaka omujjuvu Betty Amongi okwetondera abaasigaddewo.

Olwo Haji Abdul Nadduli, Florence Namayanja akiikirira Bukoto East ne Sarah Najjuma baabadde baakamala okwogera ebikwatagana n’ebyo Nantaba bye yabadde ayogerako.

Najjuma yalumbye Namuganza nti amuyise enfunda nnyingi agende e Nakaseke alung'amye ku nkaayana z’ettaka eziriyo kyokka ng’asuubiza tatuukiriza.

Olukiiko luno Namuganza yaluvuddemu munyiivu era ku Lwomukaaga n’ayita olukung'aana lwa bannamawulire ku Palamenti n’alumba Nantaba nti Minisitule y’ettaka emuluma; buli lwe yeebaka aloota Minisitule eyo!

Yalaalise okumuloopa mu lukiiko lwa Baminisita olw’okumujolongera ku kabondo k’ababaka abava mu Buganda nti era bwe wataabeerewo kikolebwa, waakugenda mu kkooti.

Yagambye nti Nantaba asaana alekulire kubanga Gavumenti gy’aweerezaamu ate gy’avuma.

Kyokka Nantaba yategeezezza nti bw’ayogera ku babba ettaka nga bayambibwako abakungu ba Gavumenti tekimufuula mulabe wa NRM era kino waakukiremerako ne bwe kinaaba kitegeeza kumutwala mu kkooti oba mu kabineti; kubanga ekimufuula omukulembeze kulwanirira bantu n’okukola ku bibaluma.

Ensonda zaategeezezza nti Namuganza bwe yaweebwa ekifo kino, Nantaba yamwekengera nti akolagana n’abamu ku bantu abazze banokolwayo nti basengula ebyalo mu ngeri ey’okunyigiriza.

Baasooka kugugulana mu December wa 2016 nga Namuganza agenze e Kayunga okunoonyereza ku nsonga z’ettaka, ekintu Nantaba kye yawakanya ennyo ng’agamba nti teyamutegeezaako era n’amulumiriza nti mu kugenda e Kayunga yalina ebigendererwa okuyamba ababbi b’ettaka okufutyanka be basengula.

Ensonga zaaloopebwa ewa Sipiika Rebecca Kadaga.

ENSONGA BAZITUTTE MU KABINETI

Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa, Fr. Simon Lokodo yanenyezza Baminisita Nantaba ne Namuganza olw’okuyombera mu lujjudde n’ategeeza nti ku Lwokusatu mu lukiiko lwa kabineti waakwanja ensonga eno.

Fr. Lokodo yategeezezza Bukedde nti: Kikyamu nnyo kubanga baminisita bamanyi ekyokukola ssinga bafunamu obutakkaanya.

Tulina okusalawo eky’okubakolera mu kabineti okwewala okuswazibwa nga Baminisita abaweereza Gavumenti emu ate okukoonagana mu lujjudde.

EBIRALA...

Minisita Nantaba ne Namuganza beeyogeredde ebisongovu mu lujjudde

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’atongoza ekitabo OMUGANDA KIKA. Akutte ekitabo ye Kyewalabye Male.

Katikkiro akunze Abaganda o...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubiriza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda...

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

Eyatemudde mukwano gwe n'am...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganzi we mu bizinga by’e...

Halima Namakula.

Halimah Namakula awakanyizz...

Omuyimbi Halimah Namakula si mumativu n'ebyavudde mu kulonda omubaka akiikirira abakadde b'omu Buganda n'alumiriza...

Philly Bongoley Lutaaya eyasooka okwerangirira mu Uganda nga bwalina siriimu.

▶️ Omututumufu ku Bukedde F...

Omututumufu;Leero tukuleetedde Uganda by'etuuseeko mu myaka 35 gavumenti ya Pulezidenti Museveni gy'emaze mu buyinza...

Everest Kayondo

▶️ Mu byobusuubuzi ku Buked...

Mulimu Ssentebe w'abasuubuzi Everest Kayondo ng'asaba okubaawo enteeseganya wakati w'abasuubuzi ne bannannyini...