TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Nantaba awangudde lawundi esooka mu lutalo lw'ettaka ne Minisita

Nantaba awangudde lawundi esooka mu lutalo lw'ettaka ne Minisita

Added 28th February 2017

MINISITA w’ebyettaka Betty Amongi ayimirizza okugoba abantu 20,000 ku ttaka e Kayunga eriwezaako obunene bwa yiika 10,000 nga lisangibwa mu Magombolola asatu ag’enjawulo.

Minisita Amongi (ku kkono) ne Nantaba.

Minisita Amongi (ku kkono) ne Nantaba.

BYA IVAN LUBEGA

Bino biddiridde akagugulano akaabaddewo wakati wa minisita Aidha Nantaba n’omumyuka wa minisita w’ebyettaka, Persis Namuganza eyalagira Madhivan aweebwe ekyapa ku ttaka lino kyokka Nantaba n’akiwakanya ne bayomba bubi nnyo.

Ku Ssande, Nantaba yasitudde minisita Amongi n’amutwala ku ttaka erikaayanirwa n’ayita olukiiko lw’abatuuze abaamunnyonnyodde ebizibu bye bayitamu n’engeri gye bagobwa mu bibanja byabwe mu ngeri etali ntuufu.

Oluvannyuma Minisita Amongi yawadde ekiragiro ekisazaamu ekyapa kino, n’alagira abatuuze okusigala mu bibanja byabwe era batandike n’enteekateeka n’okufuna ebyapa nga bwe baba tebalina ssente, Gavumenti nneetegefu okubayambako bafune ebyapa.

Wano enduula yasaanikidde olukiiko abantu ne batyabula amazina n’okutendereza Katonda eyakozesezza omubaka waabwe Nantaba okubalwanirira.

Minisita Amongi yannyonnyodde nti bwe yayingira ofiisi, ensonga z’ettaka lino yazisanga ku mmeeza era ne yeekengeera engeri ekyapa gye kyali kitambulamu ng’erabika erimu amancooro.

Yakiggumizza nti ekimu ku biragiro byalina okuva eri Pulezidenti, kwe kukomya okugoba abantu ku ttaka era wano yabadde atuukiriza kiragiro kino ky’ajja okussa mu nkola mu ggwanga wonna awali abatulugunyizibwa ku ttaka.

Okusinziira ebintu nga bwe byatambudde, minisita Nantaba yawangudde lawundi esooka n’akakasa abalonzi be nti ajja kulaga bikolwa ng’alwanirira abantu abanyigirizibwa n’alayira nti abantu bano tebajja kuva ku ttaka lino.

Avunaanyizibwa ku by’ettaka e Mukono, Robert Mbaziira yannyonnyodde nti baali baayimiriza ekyapa kino okufuluma kyokka omugagga n’ababuuka n’agenda mu ofiisi y’ebyettaka e Ntebe nebakikolerako eyo era yalabira awo nga kifulumye.

Gye buvuddeko minisita Namuganza yagenda mu kitundu omuli ettaka erikaayanirwa n’alagira abatuuze okwamuka ettaka lino kubanga lyaliko nnyiniryo agenda okukolerako emirimu era buli aliriko tali mu mateeka.

Olukiiko olufuga eby’ettaka mu disitulikiti y’e Kayunga lwe lwagaba ettaka lino mu mwaka gwa 2014 omugagga Madhivan n’asasula ensimbi ezisukka mu bukadde 200 ng’ategeezeddwa nti ku ttaka tekuli batuuze eky

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...