TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC bavuddeyo ngalo nsa mu kulonda ababaka ba East Afrika

FDC bavuddeyo ngalo nsa mu kulonda ababaka ba East Afrika

Added 1st March 2017

OKULONDA kw’ababaka ba Palamenti ya East Afrika kunyize ekibiina kya FDC ebitoliro, oluvannyuma lw’ababaka be baasimbawo okuyisibwa obubi mu kulonda okwabaddewo eggulo ku Palamenti.

Munnakibiina kya FDC, Ingrid Turinawe kata ababaka ba Palamenti bamulemese okusaba akalulu k’obubaka bwa Palamenti ya East Afrika, bwe baasituse nga bakutte ebipande ebimulumiriza nga bwe yabavvoola ng’abavuma.

Sipiika Rebecca Kadaga olwabadde okulangirira nti Turinawe y’addako okwogera, ababaka ne baggyayo ebipande obwedda bye bakukulidde okuli obubaka obw’enjawulo obulaga nga bwe batawagira Turinawe. Ebipande obwedda bisoma obubaka obw’enjawulo okuli; “No vote from pigs”, “have pigs ever vote?”, “no pigs”.

Ababaka obwedda balumiriza Turinawe nga bwe yabayita obubizzi. Kuno kwe baagasse n’ennyimba eziraga nga bwe bagaanyi okumulonda.

Ababaka okwabadde Muhamad Nsereko (Kampala Central), Patrick Nsamba (Kassanda South), Hatwib Katooto (Katerera County) bazze mu maaso ga Turinawe ne batandika okumuleekaanira okumulemesa okwogera.

Abaserikale ba Palamenti baawaliriziddwa okudda mu maaso ga Turinawe nga balaba ababaka baswakidde baagala kumugajambula.

Mubarak Munyagwa (Kawempe South), Moses Kasibante (Lubaga North) ne Allan Sewanyana baagezezzaako okulaga obuwagizi eri Turinawe, kyokka ne babasinga amaanyi.

Sewanyana yabuzeeko katono okwambalagana ne Katooto ng’amulagira yeeyongereyo era nga ne Kasibante kata bimubugume ne Nsamba.

Eddakiika omusanvu obwedda eziweebwa buli mubaka zaaweddeko nga Turinawe tayogedde ekyawalirizza sipiika okumwongera eddakiika endala.

Kyokka wadde oluvannyuma yasobodde okwogera, kyokka ababaka naddala aba NRM obwedda bayisaamu amaloboozi nga bayimba nti; “twamugaanyi kubanga yeeyisa bubi”.

Florence Ibi Ekwawu, omulala eyabadde asimbiddwaawo FDC, ye yagezezzaako okulaga amaanyi era ababaka abamu omuli n’aba NRM baamukubidde engalo ng’ayogera. Kyokka mu kwogera kwe teyayogedde nga bw’ava mu FDC.

Yategeezezza nga bw’asanyuse okusaba akalulu ku mulembe gwa sipiika omukazi, akulira oludda oluvuganya gavumenti omukazi (Winnie Kiiza), Ssabawandiisi wa NRM nga mukazi (Justine Kasule Lumumba) kyokka bangi baagaanye okumatizibwa bye yabadde abagamba.

Ababaka abava mu kibiina kya NRM be baasinze okunyumirwa okulonda anti okuviira ddala mu kusaba obululu baafunye okwanirizibwa okw’amaanyi.

Bano kwabaddeko; Rose Akol, Paul Musamali, Mary Mugyenyi, Dennis Namara, Mathias Kasamba, ne George Stephen Odongo.

Fred Mukasa Mbidde owa DP ye yasinze okufuna obuwagizi okuva mu babaka, kuba aba NRM kumpi bonna awamu n’ababaka b’oludda oluvuganya bonna baamukubidde emizira okuva lwe yatandise okusaba akalulu.

Mu baavuganyizza nga tebalina ludda, Susan Nakawuki abadde omubaka wa Palamenti ya East Africa ye yasinze okufuna obuwagizi. Ababaka ba NRM obwedda be batambuza obupapula bwe nga bwe bakuyega bannaabwe okumulonda.

Opoka Okumu owa UPC mu kaweefube w’okuwangula emitima gy’aba NRM abasinga obungi mu Palamenti, obwedda awanise ekibatu, nga ke kabonero ka UPC n’ekigalo kya NRM.

 

Aba NRM baamwanirizza mu ssanyu. Kyategeezeddwa nga bwe waliwo enzikiriziganya eyabadde etuukiddwaako wakati w’ababaka ba NRM ku kafubo ke baabaddemu, abasinga ne basalawo okuzzaayo ababaka abasatu abaabadde mu Palamenti ya East Afrika okuli; Mukasa Mbidde, Opoka Okumu ne Susan Nakawuki.

Kuno kwe baabadde balina okugatta abaabwe omukaaga be baasunsulamu.

Abantu 47 be baavuganyizza mu kulonda okwabaddemu ebbugumu, 37 be baavuganyizza nga tebalina kibiina. Mariam Nalubega eyali omubaka wa Butambala y’omu ku baavuganyizza.

Benson Ogwal Obua yasesezza ababaka ng’abasaba obululu bwe yabategeezezza nga bw’azze abasabira waakiri emirundi ebiri mu wiiki ng’ayagala babeere bulungi.

Yagambye nti abadde afuba okulaba ng’ayatula buli linnya lya mubaka mu lwatu!

Obuwanguzi bwa NRM omukaaga bwabadde busuubirwa kuba be basinga obungi mu Palamenti.

N’okwa Mukasa Mbidde, Susan Nakawuki ne Opoko Okumu kwabadde kusuubirwa kuba ababaka ba NRM abasinga obwedda balaga nti baasazeewo nga bwe batagenda kukyusaamu.

Aba FDC baavudde ku Palamenti nga bawotofu oluvannyuma lw’ebyavudde mu kulonda okubayisa obubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...