
Nalubowang’alaga ennyumba gy’alumiriza nti bba ye yagikoonye
BYA PASCAL LUTABI
Omukazi ono Hanifah Nalubowa omutuuze mu Kooki c ekisangibwa mu Town Council y’e Lyantonde yattottodde engeri bba Aziz Ssendegeya gy’amuyisaamu: Baze tumaze naye emyaka 14 nga tulina abaana bana ng’ababiri balenzi abalala bawala, omukulu wa myaka 13.
Baze nnamwanjula mu bakadde bange ewa taata Ayub Kavuma e Kabetemere ekiri mu Lyantonde Rural mu 2008. Baze akola safaari ng’avuma zino emmotoka ennene okuva mu Rwanda ne Dr. Congo.
Obuzibu buva ku baze kufuna mukyala mulala mu Kampala gwe ssimanyi mannya kyokka ekisinga okunnuma ye baze okuyita ku luguudo lw’e Mbarara ng’alina kuyita Lyantonde kyokka takyajja waka wadde nga ssemaka okuggyako ng’ayiseeyo kuntulugunya.
Nalubowa agamba nti bba yatuuka n’okumuggyako abaana be bonna abana n’abatwala ewa muggyawe e Kampala nga kati ayagala kutunda maka ge.
Nalubowa annyonnyola nti bba yakozese omukisa gw’okuggya abaana ku ssomero mu luwummula n’amusaba bagende bamulabeko e Kampala gy’abeera kuba yali mulwadde, Nalubowa ky’agamba nti teyamanya nti akoze lukujjukujju kumutwalako baana be.
Nalubowa alumiriza bba okumulumba awaka mu kiro ekyakeeseza Olwokubiri n’amenyaamenya endabirwamu z'omu madirisa g’ennyumba yaabwe gy’ayagala okutunda n’okukuulamu enzigi nga bw’amulaalika okumutuusaako obulabe singa tava mu nnyumba ye.
Nalubowa annyonnyola nti agezezzaako okutuukirira ofiisi ekola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Lyantonde lgye yamuggulirako n’emisango kyokka buli lw’ayitibwa ababuzaabuza.
Nalubowa yasabye abasobola okumuyamba ku kya bba okumuddiza abaana be n’obutatunda maka gaabwe ng’agamba nti ayagala w’anaakuliza abaana be obulungi.
Agamba nti ekya bba okufuna omukazi omulala takirinaako buzibu kuba eddiini yaabwe ey’Ekisiraamu ekikkiriza naye ekimuluma kye ky’abaana be okumuddizibwa n’amaka agamulekere akuze abaana.
Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Lyantonde, Carlo Kasheija yategeezezza Bukedde nti ensonga zaamutuuseeyo naye akyanoonya ekituufu n’engeri gy’ayinza okuyambamu Nalubowa ekyamubuze kuba agezezzaako okunonya bba Ssendegeya naye talabika