
Sadia ng’ali ku mulimu gwe yaakamlamu emyaka egisoba mu 40.
Omukono aguwuubisa maanyi ng’ayita emmotoka, oyinza okulowooza yafulumye ggulo okuva mu ttendekero lya poliisi e Masindi.
Sadia agamba:
Bakadde bange bwe baafa nga nnaakamala S.4, mukulu wange yantwala ewuwe e Kitubulu Ntebe olwo nga nnina emyaka 16. Mba ndi awaka ne balanga abaagala okuyingira poliisi.
Wano saasibamu kuba nali sinnamanya kye nnyinza kukola ebiseera ebyo. Nagenda ne nneewandiisa ne banzikiriza ne nnyingira poliisi era nga nfuuse owapoliisi, nasindikibwa e Jinja.
Mu 1985 bannonda okuyingira poliisi y’ebidduka nga twali abakyala bataano ffekka. Mu 1986 bansindika ku CPS Kampala gye nabeera okutuusa mu 2000.
Nga ndi ku CPS, abazadde n’abantu abakozesa oluguudo luno okutwala abaana ku masomero omuli agaasomeramu abaana b’abaggaga okuli Buganda Road ne Kyagwe Road banjagala olw’engeri gye nakendeezangamu omugotteko gw’ebiduuka. Bannyamba okwogera ne bakama bange ne nfuna eddaala lya kopolo.
Mu 2008 bansindika mu kutendekebwa e Masindi era navaayo ndi ku ddaala lya sajenti. Mu 2010 bankuza ne bampa ejinja limu [AIP] ekyampa amaanyi okweyongera okukola omulimu gwange.
Mu 2014, bannyongera ejinja eryokubiri (IP) era okumanya omwaka guno gwali gwange mu March nga 8 ku lunaku lw’abakyala Pulezidenti Museveni yasiima n’annyongera ejjinja ery’okusattu (ASP).
BYE NFUNYEEMU
Ku mukolo nga bannyambaza amayinja, Gen. Kayihura yanneebaza emirimu n’alagira AIGP/ Andrew Felix Kaweesi ne AC/ Moses Otara bangulire ettaka mu kifo kye njagala, banzimbire ennyumba era bagiteekemu buli kimu ssaako okungulira emmotoka eyange ng’omuntu banteereko ne polojekiti gye nnaakola nga mpummudde.
Era bino baabikolako nninze kunkwasa nju yange mu butongole. Mbuzaayo emyaka ebiri mpummule omulimu guno naye sitoma kuba ngukunguddemu ebirungi ntoko omuli n’okuzimba enju ewaffe e Paidha.
Saagala kuddamu kusaba mulimu walala kuba amaanyi gange gonna okuva nga nkyali muto ngamalidde mu poliisi era kati ηηenda mu pulojekiti endala.
BAWALA BANGE BALI MU POLIISI
Ndi mukyala mufumbo ew’omwami Moses Nyanga nga naye yali mu poliisi n’awummula era Mukama yatuwa abaana bana, abawala basatu bonna bali mu poliisi, omulenzi ye ayagala kubeera musomesa.
OKUSOOMOOZEBWA
Obulippagano si kizibu eri owa poliisi omutendeke wabula baddereeva abamu baasiwuuka empisa ne batuuka n’okutuvuma oluusi n’okwagala okututomera nga balina ebisobyo bye bakoze.
Wabula nze ndi mukyala ataseka bw’oba omenye amateeka sikuzannyisa era bampa ekitiibwa.
Obuzibu buli mu kiseera ky’enkuba, olina okubeera ku mulimu okusobola okulaba ng’akalippagano tekakwata embeera eno omaliriza oluusi omubiri gukooye