TOP

Katikkiro akungubagidde omugenzi Mayanja Nkangi

Added 7th March 2017

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga ayogedde ku Mayanja Nkangi ng’omuntu ebbanga lye lyonna abadde atambula n’olaba ekitiibwa kya Buganda, omuwi w’amagezi eri Kabaka era nga naye ng’omuntu abadde amuwabula mu ntambuza y’emirimu.

 Omugenzi Jehoash Mayanja Nkangi

Omugenzi Jehoash Mayanja Nkangi

Mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza e Bulange - Mmengo eggulo, Mayiga yalangiridde akakiiko k’Obwakabaka nga kakulirwa omumyuka asooka owa Katikkiro Amb. Emmanuel Ssendaula, Apollo Nelson Makubuya, Christine Mugerwa Kasule, Amb. William Matovu, Noah Kiyimba, Walusimbi Ssengendo ne William Nagagga.

OKWOGERA KWE:

Owek. Mayanja Nkangi yakwasibwa Ddamula mu 1964 era n’agikuuma n’akola emirimu Ssekabaka Muteesa II gye yamukwasa okutuusizza ddala mu 1966 ebiseera eby’obusambattuko Obwakabaka bwe bwalumbibwa.

Yagenda mu buwanganguse e Bungereza era Ssekabaka Muteesa II yagenda okukisa omukono mu 1969, Katikkiro Mayanja Nkangi yali naye e Bungereza era ye yakola emikolo egy’okubikisa Omulangira Mutebi akabugo omukolo ogwasooka okukolebwa mu buwahhunguse gye yali e Bungereza.

Yakomawo mu 1971 ne yeetaba mu nteekateeka ez’okutereka Ssekabaka Muteesa II mu Masiro e Kasubi. Teyaddayo mu buwahhanguse.

Yakuuma Ddamula mu biseera byonna eby’obutabanguko okuva mu 1966 okutuusizza ddala lwe yazza Ddamula ewa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’amaze okutuuzibwa ku Nnamulondo mu 1993.

Mayanja Nkangi yakola emikolo gyonna egyetaagisa Katikkiro okukola mu kutuuza Omulangira Mutebi kakati nga ye Kabaka wa Buganda.

Ssaabasajja Kabaka abadde yeebuuza ku Katikkiro Mayanja Nkangi emirundi egiwerera ddala. Nange abadde muwi wange ow’amagezi.

Akakiiko ke tutaddewo kagenda kuwuliziganya n’akakiiko ka Gavumenti .

Twebaza Katonda olw’emirimu gy’amusobozeseza okukola okuli ofiisi ennene mu Bwakabaka bwa Buganda eya Katikkiro.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...