TOP

Babazibaggya balwanidde ssente z'akameeza e Nansana

Added 7th March 2017

BAKAZI baggya balwanye ng’entabwe evudde ku ssente omwami wabwe z’abalekera ez’okukameeza okukakkana nga byeyongeddeyo ku poliisi.

Nayiga ne Nassiwa nga bali ku Poliisi y'e Nansana

Nayiga ne Nassiwa nga bali ku Poliisi y'e Nansana

Justine Nassiwa nga ye mukyala mukulu ne Jacky Nayiga mukyala muto , bbaabwe Justus Tumusiime yabateeka mu nnyumba emu nga baawula bisenge; mukyala mukulu ye yasookawo mu ddya mu 2015 ate mukyala muto n'amuyingizaawo mu January wa 2017.

Ku Lwokubiri Nassiwa (mukyala mukulu) yalumbye munne Nayiga mu kisenge gy'asula mu maka gaabwe agasangibwa ku kyalo Tuyanye mu Wakiso n'atandika olutalo ekyaddiridde kulwana ng'amulanga okutwala omuwendo omungi ku ssente z'akameeza ze babarekera okukozesa awaka.

Nassiwa agamba nti bba buli lunaku amurekera 4000/= zokka okukozesa awaka ate nga ye Nayiga amulekera 10,000/=, ekintu ekitamuyisa bulungi nga mukyala mukulu mu maka.

" Tumusiime mmulinamu abaana babiri ng’omuto wa wiiki emu wadde ng’omukulu ow’emyaka ebiri agamba nti ssi wuwe naye kinnuma okuba nti andekera obusente butono nnyo ate ng’oli atalina mwana amulekera ssente nnyingi so nga talina wadde obuvunanyizibwa,” Nassiwa bwe yagambhye.

Yayongeddeko nti ennaku ezisinga omusajja azimala wa mukyala muto nga ye ne bw'amugamba asule ewuwe amuddamu kimu nti 'Ogira onnindamu'.

Ye Jacky Nayiga yategeezezza nti Nassiwa yamulumbye ewuwe ku makya n'atandika okumukuba nga bw'amulangira okumuyingirira mu maka ge era wano we yamusambidde mu lubuto Nayiga kye yagambye nti ekigendererwa kye yabadde ayagala luveemu kuba ekimanyi bulungi nti ali lubuto.

 Nassiwa,Tumusiime ne Nayiga nga bali ku poliisi e Nansana.

“Mu kwetaasa okungi nange nnakozesezza amaanyi gange amatono ne mmuvumbagira ne mmukuba ekikonde ku mumwa era wano we yanviiriddeko nnaafuluma ng’akuba omulanga okukakkana ng’addukidde ku poliisi,” Nayiga bwe yeewozezzaako.

Poliisi y'e Nansana yasitukiddemu n'ekwata Nayiga ne Tumusiime ne batwalibwa ku poliisi mu ofiisi ekola ku nsonga y’abaana n'amaka.

Wano Tumusiime we yategeerezza nti Nayiga amuwa ssente nnyingi kuba ali lubuto olwetaaga okujjanjabwa obulungi naddala mu by’okulya.

Yayongeddeko nti Nassiwa (mukyala mukulu) yazaala omwana wabula ng’ono tamwekakasa n'agamba nti ayagala bagende ku musaayi bakebere oba ddala wuwe era nga kino bye bimu ku bimulemesa okubeera naye ekiseera ekinene.

Akola ku nsonga z’abaana n'amaka ku poliisi y'e Nansana, Margaret Andiro yategeezezza nti Tumusiime bagenda kumuwa endagaano kw'alina okutambuliza amaka ge, bw'anaagimenya waakukwatibwa aggulweko omusango gw’okutulugunya abakyala n’abaana be.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...