TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama wa Nambooze omuto aleese bwiino ku bya famire emukaayanira

Maama wa Nambooze omuto aleese bwiino ku bya famire emukaayanira

Added 15th March 2017

MAAMA omuto ow'omubaka ow'ekibuga Mukono, Betty Nambooze atangaazizza ku famire ya Nsubuga ekaayanira Nambooze n’ategeeza nti naye akimanyiiko.

 Nambooze ku ddyo

Nambooze ku ddyo

MAAMA omuto ow'omubaka ow'ekibuga Mukono, Betty Nambooze atangaazizza ku famire ya Nsubuga ekaayanira Nambooze n’ategeeza nti naye akimanyiiko. 

Proscovia Namuyiga, muto wa Justine Nakato Mawemuko (azaala Nambooze) nga mutuuze wa Seeta - Mukono mu Bugoba Zooni agamba nti ensonga za famire ya Nsubuga okukaayanira Nambooze azze aziwulira kyokka n’abulwa w’azitandikira!

Yagambye nti teyakoma ku kuziwulira wabula baazimutuuzaamu ng’era eyazimutuzaamu ye bbaabwe (Nsubuga).

“ Lumu tuba tugenda okuziika, Nsubuga n’ang'amba nti; nkubuulire mukyala, mukulu wo oyo (Justine Nakato Mawemuko) yagaba omwana wange mu b’Ekkobe ate ng’akimanyi nti wange kuba twamutuuma n’erinnya erya Betty Namutebi.

Yayongerako nti; Omwana wange gwe yagaba ye Betty Namutebi abalala gwe bamanyi nga Nambooze nti era alina obukakafu bwonna oyo omwana wuwe be kku!” Namuyiga bw’ajjukira.

Yategeezezza nti ng’amaze okuwulira ebyo yasiriikirira kyokka Nsubuga n’amugamba nti; Ne bwe ndiba nfudde luliba olwo omwana wange oyo n’akomawo mu kika kye eky’Emmamba nga yeereeta oba ab’ekika kyange okumununula.

Nsubuga okwogera bino nga Nakato Mawemuko amaze okufa nga talina w’atandikira kuba ne Nakato okugenda okufa nga talina ky’amubuuliddeko.

Namuyiga ayongerako nti Justine Nakato yali mukulu we era ye yamulera okuva lwe yazaalibwa mu 1962 kyokka waayitaawo ebbanga ttono ne Nambooze n’azaalibwa mu 1969 nga babeera e Seeta Mukono.

Agamba nti Nambooze mu kika ky’Ekkobe agenzeeyo ng’akuze kuba ebiseera ebisinga abimaze ne nnyina era mu biseera bye yabeerera omuto nga Nambooze ne nnyina batera okugenda ewa Nsubuga.

“ Nnalabanga Nambooze ne muganda wange nga bagenda ewa Nsubuga nga bayita awo ewange kuba nnali nfumbiddwa nga Nsubuga akyabeera eri wansi mu Bugoba Zooni, era ng’alwayo oluusi nga basiibayo ndowooza Nsubuga ky’ava yagamba nti omwana wuwe.” Namuyiga bw’alowooza.

Nsubuga nga tannafa yali awera nkolokooto nti Nambooze alina okudda ewaabwe kubanga yamusasulirako ne Bishops Senior, noolwekyo tajja kukkiriza bya kumwegaana.

Margaret Nanfuka, Nnamwandu wa Nsubuga nga mutuuze ku kyalo Ddikwe –Nakifuma mu disitulikiti y’e Mukono yawadde Bukedde olukalala lw’amannya g’abaana ba Nsubuga be yawandiika ku lupapula nga Nambooze waakusatu kyokka ng’amuyise Betty Maama wa Nambooze omuto akakasizza ebya famire ya Nsubuga Namutebi.

Wabula wadde biri ng’egamba nti bino byonna bigendereddwa kumwonoonera linnya tebiriimu mazima gonna.

Yo Famire y’omugenzi Ssaalongo Ignatius Lumala ow’oku kyalo Nantabuulirirwa eyali azaala omugenzi Justine Nakato Mawemuko maama wa Nambooze bagamba nti oyo yenna akaayana wa ddembe okugenda ku musaayi.

Jennifer Nabisubi nnyina wa Nambooze omuto yawadde aba famire ya Nsubuga amagezi basitule obukakafu bwe balina nti Nambooze mwana waabwe bamunnyonnyole nti naye bbo kye bamanyi, Nambooze wa Kkobe si wa Mmamba Justine Nakato Mawemuko yali mukyala mukozi era munnabyabufuzi ateerya ntama era muto we Fatumah Nankya agamba nti, ye yasiiga ne Nambooze ebyobufuzi.

Abasomesa beekalakaasizza lwa misaala Abasomesa nga beekalakaasiza ku kitebe kya disitulikiti e Mayuge.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...