
Omukuumi wa Afande Kaweesi, Kenneth Erau bwe battiddwa abazigu ku Lwokutaano aziikiddwa ku kyalo Orungo mu disitulikiti y'e Amuria..
Abadde omukungubazi omukulu, Minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga, General Haji Abubaker Jeje Odongo ategeezezza nti Erau baamuggyeemu amasasi 33 lwakuba yabadde agezaako okutangira abazigu obutatuusa bulabe ku mukama we.
Odongo era nga ye mubaka w'ekitundu ky'e Orungo mu Palamenti ategeezezza nti ekikolwa Erau kye yayolessezza kya muzira era tewali kubuusabuusa, Erau yafudde nga muzira.
Waasoose kubaawo kusabira omwoyo gw'omugenzi nga kwakuliddwa Rev. Julius Ariko, bwanamukulu w'ekigo kya Orungo.
Ebifaananyi bya Godfrey Ojore