TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuserikale attiddwa nga Poliisi erwanagana n'abazigu e Sembabule

Omuserikale attiddwa nga Poliisi erwanagana n'abazigu e Sembabule

Added 22nd March 2017

Omuserikale wa Poliisi attiddwa mu kanyoolagano nga Poliisi erwanagana n'abazigu b'amajambiya abaalumbye ekyalo Bugoloobi e Ssembabule mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Ofiisa wa Poliisi ng'agumya abatuuze b'e Bugoloobi oluvannyuma lw'abazigu okubazinda n'ebijambiya n'emiggo ne balumya abantu 10. EBIFAANANYI BYA MARIA NAKYEYUNE

Ofiisa wa Poliisi ng'agumya abatuuze b'e Bugoloobi oluvannyuma lw'abazigu okubazinda n'ebijambiya n'emiggo ne balumya abantu 10. EBIFAANANYI BYA MARIA NAKYEYUNE

BYA MARIA NAKYEYUNE

Omuserikale wa Poliisi attiddwa mu kanyoolagano nga Poliisi erwanagana n'abazigu b'amajambiya abaalumbye ekyalo Bugoloobi e Ssembabule mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Vicent Ssemivumbi (40) okufa kyavudde ku butakwatagana wakati wa Poliisi y'e Mateete n'ey'e Lwebitakuli. Ab'e Mateete baakubye amasasi mu bazigu ne gakwatiramu omuserikale w'e Lwebitakuli eyabadde ku pikipiki n'afiirawo.

 Omu ku boofisa ba Poliisi ng'ayogera n'abatuuze b'e Bugoloobi

Omwogezi Poliisi ya Southern Region, Diana Nandawula ng'ayogera n'abaamawulire

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo, Diana Nandawula alaze yennyamidde  ku kyabaddewo n'agamba nti abaserikale bana bakwatiddwa bongere okunnyonnyola Poliisi ku byabaddewo.

Nandawula abasabye abatuuze okwongera okukwatagana ne Poliisi okulwanyisa abazigu abasusse abatuuze.

Joseph Ntege, omu ku batuuze abaasimattuse abazigu b'ebijambiya. Yabuuse n'ebisago

 

Abatuuze nga bali mu kutya

 

Abatuuze abawera 10 be baddusiddwa mu malwaliro e Mateete okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw'okufuna ebisago ebyamaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...