TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mubajje mwennyamivu: 'Abandikuumye abantu ate be batta'

Mubajje mwennyamivu: 'Abandikuumye abantu ate be batta'

Added 23rd March 2017

MUFTI wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje yennyamidde olw'ettemu erisusse mu ggwanga ekituusizza abantu okubeera mu kutya.

 Mufti Mubajje

Mufti Mubajje

Bino yabyogedde asisinkanye ba disitulikiti Khadi ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde.

Yavumiridde okutemulwa kwa AIGP Andrew Felix Kaweesi abadde omwogezi wa poliisi ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde wamu n’abantu abalala abazze battibwa mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo.

Yagambye nti ng’oggyeeko okutemulwa kw'Abakulembeze b’Obusiraamu, omukungu w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwaaba emisango Joan Kagezi, abantu baabulijjo bali mu kutya olw'ettemu erizze likolebwa kyokka okunoonyereza ne kutakomekkerezebwa.

“Abantu bali mu bweraliikirivu kuba abaserikale abandibadde babawa obukuumi, ate kati abatemu be batunuulizza emmundu, nga babatugumbula.” Mufti bwe yagambye.

Sheikh Mubajje yennyamidde olw'abatemu abalabika nga tebakyatya, anti abantu be baatemulanga ekiro mu ttumbi, mu kiseera kino babatemula misana ttuku.

Yasabye ab'ebyokwerinda okukola buli ekisoboka okunyweza ebyokwerinda by'abantu bonna.

Yasabye n’Abasiraamu okulaajanira Katonda ataase Bannayuganda mu mbeera y’obweraliikirivu gye balimu.

Ba disitulikiti Khadi bonna baalagiddwa okukolagana obulungi ne Gavumenti ezeebitundu, abakulembeze b'enzikiriza bonna n’abakulembeze b'ennono basobole okukulaakulanya ebitundu byabwe.

Yagasseeko n’okubakubiriza okukubiriza Abasiraamu mu disitulikiti gye bava okwenyigira mu kulima emmere ebamala mu biseera by'enkuba, kibayambe okufuna kye balya mu kiseera ky’omusana.

Ensisinkako eno yabaddeko n'omumyuka wa Mufti, Sheikh Abdallah Semmambo, ssaabawandiisi wa UMSC, Ramadhan Mugalu, akulira ebyenjigiriza Sheikh Murshid Luwemba n’akulira ebyensimbi Issa Shaban n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...