TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Kaweesi abaamusse baasoose kumuweereza bubaka ku ssimu obusoma nti 'Nja ku kutta'

Kaweesi abaamusse baasoose kumuweereza bubaka ku ssimu obusoma nti 'Nja ku kutta'

Added 23rd March 2017

Ensonda zaategeezezza nti Kaweesi (kati omugenzi) yalaze omusumba ono obubaka obwamusindikiddwa ku ssimu mu 'mmesegi' nga busoma nti badde busoma nti ‘nja ku kutta.’

 Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

KIZUULIDDWA nti ennaku bbiri nga tanattibwa, Andrew Felix Kaweesi abadde omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, yasisinkanye omusumba w’Abakatoliki n'amutegeeza nga bwe yeekengedde olw'obubaka abatemu bwe baamuweerezza ku ssimu ye.

Ensonda zaategeezezza nti Kaweesi (kati omugenzi) yalaze omusumba ono obubaka obwamusindikiddwa ku ssimu mu 'mmesegi' nga busoma nti badde busoma nti ‘nja ku kutta.’ 

Obubaka buno bwasindikiddwa okuva ku nnamba y'essimu etali mpandiise.

Omusumba eyagenze mu maaso n'akuba obubaka buno akafaananyi ku ssimu ye yasigadde yeewunya lwaki ennamba ezitali mpandiise zikyakkirizibwa okukozesebwa mu ggwanga ku mayengo g'empuliziganya!

Kaweesi yagenze mu maaso n'ategeeza omusumba nga bwe yali agudde mu ddiiru ey'amancoolo ng'ekolebwa omu ku banene era n'agiremesa n'egwa butaka.

Kaweesi 43, yatemuddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga 17/03/2017 ng'ali wamu n’omukuumi we ne ddereeva e Kulambiro, mu Kampala bwe yabadde yaakava awaka okugenda ku mulimu.

Yaziikiddwa ku Lwokubiri ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Kitwekyanjovu  ekisangibwa e Kyazanga mu disitulikiti y’ e Lwengo.

Yalese Nnamwandu n’abaana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu