TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ebiraga nga poliisi bw'erimu abakolagana n'abamenyi b'amateeka: Abamenyi b'amateeka abamu babayingizza mu Poliisi

Ebiraga nga poliisi bw'erimu abakolagana n'abamenyi b'amateeka: Abamenyi b'amateeka abamu babayingizza mu Poliisi

Added 23rd March 2017

KU Lwokubiri Afande Andrew Felix Kaweesi yaziikiddwa mu bitiibwa n’okwaziirana ku kyalo Kitwekyanjovu e Lwengo. Wabula Pulezidenti Museveni bwe yabadde akubagiza famire ye yagambye nti mu poliisi mulimu ebibinja ebikolagana n’abamenyi b’amateeka n’asaba omuduumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura okugigogola. Mu mboozi eraga engeri abamenyi b’amateeka gye basenseddemu poliisi, Kalondoozi wa Bukedde alaze ng’okukolagana n’ababbi, abatemu n’abamenyi b’amateeka gye kimaze ebbanga.

 Abanene mu poliisi nga baziika AIGP Andrew Felix Kaweesi e Lwengo.

Abanene mu poliisi nga baziika AIGP Andrew Felix Kaweesi e Lwengo.

MU 2001, Omulamuzi Julia Ssebutinde bwe yamaliriza lipooti ye ku nguzi n’emivuyo egiri mu kitongole kya Poliisi, bingi bye yazuula ne bye yawabula bikolebwe okuleetawo enkyukakyuka tebyakolebwa, ebisinga byasuulibwa mu kasero.

Ekisooka yawabula nti abapoliisi bafuna ssente ntono nnyo ez’omusaala, n’agamba nti asembayo okufuna entono yandiweereddwa 600,000/-; kyokka emyaka giyiseewo 16, owapoliisi afuna kimu kyakubiri ku ssente Ssebutinde ze yayogerako.

Naye ekisinga okuvaayo ennyo mu lipooti ye kwe kuba nga yalabula nti abapoliisi naddala abali mu bifo ebinene bakolagana n’abamenyi b’amateeka, be basinga okulya enguzi ate tebawabulwa.

Mu bamu ku bakungu be yayogerako abaali beetaaga okukangavvulwa bangi baakuzibwa dda era be balina obuvunaanyizibwa mu Poliisi.

Abakungu abasinga ku abo ne mbega omukulu mu Poliisi, ASP Steven Mugarura yaboogerako mu lipooti bbiri ze yakola omwaka oguwedde nti bakolagana n’abamenyi b’amateeka. Boofiisa omulamuzi Ssebutinde bwe yayogerako mulimu John Baptist Kasango ne munne Magid Babunduka , akakiiko ka Ssebutinde be kaalumiriza okubba doola 1,500 ne zaabu okuva ku Mukongo Lukulirwa Kambale nga November 11, 1997.

Bano bombi mu poliisi bakyalimu! Ssebutinde yagamba nti bofiisa bano eyali ASP Edward Ochom ng’akulira Kampala Extra mu kiseera ekyo yabazibiikiriza, nti ate Ochom ono y’omu ku baadibaga omusango gw’okunoonyereza ku nfa y’omuvuzi w’emmotoka z’empaka Gerald Kiddu mu 1997!

Akakiiko kaali kalagidde okukangavvula bofiisa Martin Okoth-Ochola eyali awabula akakiiko ka poliisi akagaba ttenda; Godfrey Bangirana (Logistics/ Engineering) ne Grace Turyagumanawe (yali akulira bikwekweto) nti nabo emivuyo gino baagirimu nnyo.

Boofiisa abalala be baanokolayo mu lipooti mwalimu Stephen Okwalinga, John Luyirika Musoke (ono baamuwaliriza okulekulira), George Garyahandere n’abalala. Abamu bakulu mu poliisi, abalala wadde baawummula naye bakyalina amaanyi mu poliisi.

Kale Pulezidenti Musevmulimu abanene abakolagana n’abamenyi b’amateeka alinga eyabadde akooneramu lipooti ya Ssebutinde, sso ng’abanene mu kiseera ekyo baavuluga lipooti ye nti teriimu bujulizi! Mu August wa 2012 owa poliisi Zacheus Odong yakwatibwa mu bubbi bwe baalumba ekibanda kya ssente ekya Jetset mu kibuga Gulu ne babba obukadde obusoba mu 40.

Odong yali akolagana n’omu ku babbi abaali ab’olulango Andrew Otima eyakubwa amasasi nga bakola obubbi obwo. Mu February wa 2013, abaserikale Sgt. Idris Okello eyali akolera e Kajjansi, Emmanuel Muyenga n’omulala Ismail baakubwa amasasi bwe baali beenyigira mu bubbi bwe baalumba ekkolero lya Five Star Excellent e Kyengera.

Abaserikale bano oluvannyuma kyategeerekeka nti olukwe luno lwalimu n’abamu ku bakama baabwe wabula ebyembi baafa nga tebaboogedde.