TOP

Ensonga lwaki Kasingye y'asikidde Kaweesi

Added 27th March 2017

GEN. Kale Kayihura nga tannalangirira Kasingye ku kifo ekibaddemu Kaweesi, yasoose kusisinkana Badayirekita bonna 22 ababadde ku ddaala lye limu ne Kaweesi.

GEN. Kale Kayihura nga tannalangirira Kasingye ku kifo ekibaddemu Kaweesi, yasoose kusisinkana Badayirekita bonna 22 ababadde ku ddaala lye limu ne Kaweesi.

Mu lukiiko luno olwatudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, Gen. Kale Kayihura yasoose kubuuza Badayirekita bonna: Ku mmwe mwenna, ani ayagala okukola omulimu AIGP Kaweesi gw’abadde akola ogw’okwogerera poliisi? Bonna baasirise.

Kayihura bwe yalabye basirise bonna, kwe kunokolayo amannya abiri: Ku AIGP Mugenyi ne AIGP Kasingye abaayogerera poliisi emyaka emingi, kubeereko eyeerondako okukola omulimu guno. Bombi baasigadde basirise.

Awo Kayihura kwe kusalawo n’abategeeza nti mu ndowooza ye, Kasingye adde mu kifo ekyo.

Yagambye nti ng’alabira ku mulimu Kaweesi gw’abadde akoze okutereeza ekifaananyi kya poliisi, yasazeewo ekifo ky’obwogezi kigendanga kubeerangamu muntu ali ku ddaala lya Dayirekita ali ku ddaala lya AIGP kubanga oyo abeera n’obusobozi okwanukula buli kibuuzo ekikwata ku poliisi nga tamaze kwebuuza ku muduumizi wa poliisi.

Abamu baabadde basuubira erinnya lya AIGP Fred Yiga kubanga naye yayogererako poliisi ate y’abadde atwala ekitongole ky’omulung'amya w’ebyobufuzi, wabula eryo Kayihura yalyogeddeko alangirira nga bw’amukyusizza n’amutwala mu Poliisi y’ensi yonna (Interpol) ekibaddemu Kasingye.

Kasingye yaweereddwa eky’omulung'amya wa poliisi era avunaanyizibwa ku nkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo ekibaddemu Yiga; era Kayihura n’agamba nti Mugenyi asigale mu kuduumira ebikwekweto kubanga yeetaaga ekiseera okufuna obumanyirivu mu mulimu ogwo ogwamuweebwa omwaka oguwedde.

Kayihura yagambye nti yasazeewo obwogezi bwa poliisi buddeyo mu ofiisi ya Dayirekita alung'amya ebyobufuzi mu poliisi era avunaanyizibwa ne ku nkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo.

Kayihura okuwa Kaweesi obwogezi, yasooka kubuggya mu ofiisi ya Dayirekita oyo n’abuzza mu ofiisi ye ey’omuduumizi wa poliisi mwe yasinziira n’abukwasa Kaweesi omwaka oguwedde ng’alaba ekifaananyi kya poliisi kyongera kufa buli lunaku.

ENSONGA ENDALA EZAAWEESEZZA KASINGYE EKIFO

Mu kusooka, abantu bana be baabadde batunuuliddwa; Andrew Sorowen, Yiga, Kasingye ne Mugenyi wabula amannya abiri Kayihura ge yaleese, kyabadde tekikyasoboka ate kugattako lya Sorowen n’erya Yiga.

Kasingye atunuulirwa ng’ali waggulu wa Badayirekita abasinga obungi olw’obuyivu (alina PhD), era ne ku bumyuka bw’omuduumizi wa poliisi y’abadde avuganya ne Kaweesi kw’ossa John Ndungutse.

Wadde Mugenyi gwe baasoose okuwa obwogezi obw’ekiseera, abamu baakirabye nti kijja kuba kizibu omuduumizi w’ebikwekweto ate okubeera omwogezi.

Ebikwekweto byetaaga obudde bungi ate n’obwogezi bwetaaga obudde era ng’okuwa Mugenyi ekifo, kyabadde kitegeeza kumukyusa ave mu kuduumira ebikwekweto kw’atannawezaamu wadde omwaka.

Mu biseera eby’okulonda kwa 2016, Kasingye yakwasibwa obuvunaanyizbwa ku lw’ebitongole by’ebyokwerinda byonna ebiri mu kakiiko ka Joint Security Committee okubyogerera ku ntambula ya kampeyini n’obutebenkevu mu kalulu. Kino nakyo kyabadde kikyajjukirwa.

Mugenyi ne Yiga baakolerako wansi wa Kasingye mu kiseera we baabeerera aboogezi ba poliisi kuba baali wansi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo.

Kasingye yasanyukidde enkyukakyuka zino era yategeezezza Bukedde nti:

" Kituufu Kaweesi abadde alwanye nnyo okulaga ekifaananyi kya poliisi ekirungi eri eggwanga gattako okwagazisa abapoliisi omulimu gwabwe.

Muganda wange Andrew Felix Kaweesi we yakomye we ng'enda okutandikira okutwala mu maaso omulimu ogwo.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...