
Bambega batumizza olukalala olulaga amasimu omukuumi ono ge yakuba ku Lwokutaano ku makya, wamu n’ago agaamukubirwa.
AIGP Andrew Felix Kaweesi yakubwa amasasi agaamuttirawo ku ssaawa nga 3:30 ez’oku makya ku Lwokutaano nga March 17, e Kulambiro nga yaakasimbula ewuwe.
Kaweesi yalina abakuumi babiri abaasigalanga awaka era kiteeberezebwa nti omu ku bbo ye yakolagana n’abatemu oluvannyuma lw’okumusuubiza ensi n’eggulu!
Abanoonyereza ku musango gw’okutemula Kaweesi baasoose kwekenneenya ebyasangibwa mu kifo we battira Kaweesi omuli engeri emmotoka gye yasangibwa esimbiddwa wabbali w’oluguudo nga tewali nsiitaano yonna etera okubeerawo ng’omuntu alina emmundu alumbye ofiisa alina abakuumi.
Bambega mu kwetegereza ebyo we baatuukidde ku kigambibwa nti waliwo omuntu eyasooka okuyimiriza emmotoka ya Kaweesi era nga Kaweesi ne ddereeva Godfrey Wambewo baali bamumanyi bulungi.
Bateebereza nti amangu ddala ng’omuntu oyo ayimirizza Kaweesi mu kifo awataali bantu balala, pikipiki ezaaliko abatemu we zaatuukira ne zitandika okukuba amasasi.
Omuduumizi wa poliisi bwe yali ayogera mu kuziika Kaweesi e Kitwekyanjovu, Lwengo ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde yagambye nti waliwo kkamera ya Supermarket eyalaga abasajja abasatu nga bava mu kifo we battira Kaweesi, kyokka bbo abaalaba ebyaliwo ng’abatemu badduka bagamba baalaba abantu 4 ku pikipiki bbiri.
Kiteeberezebwa nti omuntu owookuna y’oyo eyayimiriza Kaweesi era oyo y’eyali awuliziganya n’omu ku bakuumi b’awaka.
Omukuumi Kenneth Erau gwe batta ne Kaweesi, yali amutambulirako butambulizi era bwe baamalirizanga emirimu, ng’agendera ku mukama we okumutuusa ewuwe e Kulambiro, olwo n’alyoka amukwasa abakuumi ababiri ababadde basigala awaka; musajja wattu n’adda e Naggulu.
Kaweesi abadde n’enkola nga Erau ne ddereeva Wambewo bwe bamala okumutuusa awaka ng’abagamba batwale emmotoka y’omulimu ku poliisi ya Kira Road w’ebadde esula; olwo ku makya ne balyoka bakima emmotoka we baagirese ne bagenda e Kulambiro okukima mukama waabwe.
Erau ne Wambewo baabasse ne Kaweesi era ku mmotoka we baabattidde, bambega baalonzeewo ebisosonkole by’amasasi 72.
Byabadde byetabise nga mulimu eby’emmundu eyakolebwa Abamerika ey’ekika kya M4 Carbine ne AK 47.
Omukuumi ono anoonyerezebwako (amannya galekeddwa) agambibwa okuba nga yalina obutali bumativu ku Kaweesi nga buva ku kumupeeka okumuyamba alinnyisibwe amadaala, wabula Kaweesi n’amutegeeza nti okukuzibwa kwe kulina kumala kuyita mu mitendera egirambikibwa mu poliisi.
Kigambibwa nti abatemu bwe baamanya obutali bumativu omukuumi ono bwe yalina, kwe kufuna oluwenda era mu bye baamusuubizza mwabaddemu n’okumupangira alinnyisibwe eddaala atuuke ku ASP erimusobozesa n’okufuuka DPC.
Bino byonna bambega bakyabinoonyerezaako okuzuula obujulizi obubirimu.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti wadde bazudde obuufu buno obusobola okubatuusa ku bantu abatuufu abasse Kaweesi ne banne, omukuumi on