TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emisango 37,827 gikyakandaaliridde mu kkooti - Lipooti

Emisango 37,827 gikyakandaaliridde mu kkooti - Lipooti

Added 29th March 2017

Lipooti eno eyanjuddwa omulamuzi Richard Buteera eyakulembera akakiiko eraze nti emisango 37,827 gye kikyakandiridde mu kkooti nga kugino egisinga giri mu kkooti ejulirwamu, ekulemberwa omulamuzi Steven Kavuma.

 Ssaabalamuzi Bart Katurebe

Ssaabalamuzi Bart Katurebe

Akakiiko akaateekebwawo okumunoonyereza lwaki emisango gyetuumye mu kkooti kawaddeyo lipooti eri Ssabalamuzi Bart Katurebe.

Lipooti eno eyanjuddwa omulamuzi Richard Buteera eyakulembera akakiiko eraze nti emisango  37,827  gye kikyakandiridde mu kkooti nga kugino  egisinga giri mu kkooti ejulirwamu, ekulemberwa omulamuzi Steven Kavuma.

Buteera agambye nti ebimu ku bivuddeko emisango okwetuuma mulimu eky'abalamuzi okuba n'endowooza embi eri omulimu gwabwe, abantu okuggulawo emisango ne batagigoberera, abantu obuteetegeka bulungi n'ebirala bingi.

Wammanga ge magezi akakiiko ge kawadde;

  • Emisango gyonna egimaze emyaka 2 nga bannanyini kugiggulawo tebagifaako gigobwe.
  • Abalamuzi mu kkooti zonna okusala emisango gye baawulira edda mu bbanga kya myezi 6.
  • Okunoonyereza ku balamuzi abalwawo okusala emisango awatali nsonga.
  • Lipooti era agamba nti ekitongole ekiramuzi kyongere okuzzaamu amaanyi kkooti z'okubyalo eza  LC, emisango emitono gireme kuleetebwa mu kkooti.

Ye Ssabalamuzi Katurebe agambye nti agenda kwekenneenya lipooti n'abalamuzi abalala balabe engeri y'okugissa  mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

Amasomero ga gavumenti gafu...

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona...

Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Okusuubula enkoko n'ozonger...

OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye. Kino kizingiramu okusuubula...

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

▶️ Museveni akkirizza okuyi...

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe...