TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bambega bazudde ebipya ebyongedde ebibuuzo ku nfa ya Kaweesi

Bambega bazudde ebipya ebyongedde ebibuuzo ku nfa ya Kaweesi

Added 30th March 2017

BAMBEGA abazzeeyo e Kulambiro we battira Felix Kaweesi balina bye bazudde ebyongedde ebibuuzo ku nfa ye.

 Ekifo Andrew Felix Kaweesi (mu katono) we baamukubira amasasi e Kulambiro

Ekifo Andrew Felix Kaweesi (mu katono) we baamukubira amasasi e Kulambiro

BAMBEGA abazzeeyo e Kulambiro we battira Felix Kaweesi balina bye bazudde ebyongedde ebibuuzo ku nfa ye.

Ekibuuzo ekisooka; kisoboka emmotoka etambula okukubwa amasasi agali mu 80 ne ddereeva waayo n’attibwa kyokka n’esigala ng’eyimiridde mu kifo kimu wakati mu luguudo? N’etewaba wadde ffuuti emu okuva ku kkubo!!!?

Ekibuuzo nnamba 2; Obubonero bulaga nti emmotoka eno yakubwa amasasi ng’eyimiridde. Lwaki yayimirira?

Nnamba 3; Kaweesi we baamuttira kirabika tewaaliwo nsiitaano yonna. Kisoboka okuba ng’emmotoka eno yalimu omuntu owookuna ng’ali mu mutto gw’emabega ddala? Ng’ono ye yakuba ddereeva n’azzaako omukuumi wa Kaweesi ne Kaweesi yennyini?

Nnamba 4; Kisoboka okuba nga ddereeva wa Kaweesi yali mu lukwe, kyokka ng’abaalukola baamukweka okumanya nti naye yali waakulufiiramu! Bwatyo bwe yatuuka mu kifo ekyo n’asiba emmotoka?

Nnamba 5; Kisoboka okuba nga waliwo omuntu eyali amanyiganye ne Kaweesi eyayimiriza emmotoka era n’eyimirira? Bwe kiba kituufu ng’omuntu ono yali mu lukwe n’abatemu?

Nnamba 6; Bwe kiba kituufu ng’abatemu baasooka kukuba mupiira gwa mmotoka ogw’emabega, kiyinzika okuba ng’abaserikale abatendeke abaali mu mmotoka - Kaweesi, ddereeva we n’omukuumi baayimirira buyimirizi? Oba ddereeva omuserikale awo yandibadde ayongeza ku muliro kuddusa mukama we?

Mu kiseera kye kimu mbega eyeekozesa yekka Freddie Egesa agambye nti ssinga y’abadde anoonyereza ku nfa ya Kaweesi yanditunuulidde ebintu bino;

  • Engeri ddereeva wa Kaweesi gye yayimiriramu ereetawo okulowooza nti kiyinzika okuba nga waaliwo ekkobaane wakati wa dsereeva Geofrey Wambewa n’abatemu; oba ku batemu kwaliko gwe baali bamanyi ne bayimirira nga tebamanyi nti yalina ekigendererwa ky’okubatta.
  • Kyetaagisa okwetegereza ennyo ekifo awaba wazziddwa omusango kubanga kibeera kyeyogerera. Mbega alina obukugu obumala asobola okwogeza ekifo ekyo okuzuula ebiyinza okubatuusa ku mutemu eyatta. Mu kifo we battira Kaweesi engeri gye waaliwo obugulumu mu luguudo, mmotoka eteekwa okuba nga yali etambula mpola ku sipiidi ya kiromita ezitasukka 20 buli ssaawa n’agamba nti kino kisobola okunnyonnyola lwaki tewaaliwo nsiitaano yonna wadde emmotoka okuwaba. Kyokka era emmotoka teyandiyimiriridde ddala!
  • Okwetegereza oba ggiya yali mu nnamba egenda mu maaso, oba eyimirira oba edda emabega. Ekyo kwe kusinziirwa okuzuula oba nga Kaweesi, Kenneth Erau ne Wambewa baliko omuntu eyabayimiriza ne balyoka babakuba amasasi. Okusinziira ne ku ngeri emirambo gye gyasangibwamu mu mmotoka, kiraga nti omu ku batemu yalina emmundu ey’amaanyi, baasinziira ku ludda ki? Baali ku lwa kkono awaali omupiira gw’emabega gwe baasooka okukuba?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnabagereka wa Buganda yeet...

Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda yeetabye ku mukolo gw'okuwerekera omwoyo gw'omugenzi Dr. Cyprian Kizito...

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...

Obutebe nga butegekeddwa ku Lutikko e Lubaga awagenda okuziikibwa Ssaabasumba Lwanga (mu katono) enkya.

Enteekateeka z'okuziika Ssa...

ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu...