TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omulamuzi awadde ensonga 5 lwaki yagaanye Kanyamunyu okweyimirirwa

Omulamuzi awadde ensonga 5 lwaki yagaanye Kanyamunyu okweyimirirwa

Added 30th March 2017

OMULAMUZI wa kkooti nkulu Yasin Nyanzi awadde ensonga ttaano lwaki yagaanye Mathew Kanyamunyu okweyimirirwa kyokka yakkiriza muganzi we Cynthia Munwangari ne muganda we Josepha Kanyamunyu beeyimirirwe.

 Kanyamunyu ne mukazi we Cynthia nga bali ku kkooti. EKIF: ALICE NAMUTEBI

Kanyamunyu ne mukazi we Cynthia nga bali ku kkooti. EKIF: ALICE NAMUTEBI

Omulamuzi Nyanzi asinze kwesigama ku kutya kw’oludda oluwaabi n'agamba nti yadde nga omusango  gw’okutta Akena tegunnamusingisibwa era nga tegunnatandika kuwulirwa, obujulizi n’abantu bonna abagenda okumulumirizza abamanyi era asobola okufuna engeri gy'acankalanyaamu obujuluzi.

Okusinziira ku kiwandiiko ky’omuwaabi wa Gavumenti, Barbra Masinde omulamuzi Nyanzi ky'ajuliza agambye nti yadde nga kkooti eteekwa okufaayo ku ddembe lya Kanyamunyu okweyimirirwa, kkooti era erina obuvunaanyizibwa bw’okutangira obumenyi bw'amateeka mu bantu.

Kuno agasseeko nti Kanyamunyu ye mutwe omukulu mu ttemu  lya Akena era nga  waddembe okugamba nti bamuwaayiriza saako n’okusirika n’abatabaako ky'ayogera  naye omulimu gw’okulaga kkooti nti Kanyamunyu yeetaba mu kikolwa ky’obutemu guli eri oludda oluwaabi, n'akomekkereza ng'agamba nti ensonga z’oludda oluwaabi zamaanyi nnyo okusinga eyiye emu yokka bw'eti.

Obujulizi obugenda okwesigamwako bulaga nti Cynthia teyeetaba mu kutta mugenzi Akena naye yaliwo ng'ettemu likolebwa kyokka n'ayambako muganzi we  Kanyamunyu okukweka obujulizi ate ye Joseph Kanyamunyu n'akweka emmundu eyakozesebwa muganda we Mathew Kanyamunyu mu ttemu lino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katebalirwe

'Gavumenti yabadde ntuufu o...

AKAKIIKO k'eddembe ly'obuntu kayise ba agenti b'abeesimbyewo abaakwatiddwa oba okutaataaganyizibwa ku lunaku lw'okulonda,...

Ssebunnya

Ssebunnya alambuludde ebyas...

OMUWABUZI wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Buganda, Robert Ssebunnya avuddeyo n'ayogera ku mbeera y'ebyokulonda...

Nabirah.

Omuliro mu kalulu ka Bammeeya

BANNAKAMPALA basuze mu keetereekerero okulonda Loodi Meeya wabula ekibuuzo ekiri mu bantu kiri kimu: Erias Lukwago...

Bano baabadde ku boodabooda nga batwala omulwadde mu ddwaaliro.

Basonze ku kyasuddeMuseveni...

ABATUUZE mu disitulikiti y'e Mayuge n'abakulembeze boogedde lwaki Robert Kyagulanyi Ssentamu ‘Bobi Wine' owa NUP...

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes lwe yasimattuka okuf...

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza;...