TOP

Ebibuuzo 43 ebirina okuddibwamu ku Kaweesi

Added 31st March 2017

AIGP Andrew Felix Kaweesi yafiiridde ku myaka 43. Yatemulwa nga yaakava mu maka ge e Kulambiro okugenda okukola.

Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

Okuva olwo poliisi eri ku muyiggo gwa kukwata batemu. Abatunuulizi ku mbeera eno balina ebibuuzo 43 bye bakyebuuza ku nfa ye!

1.Enzita ey’obukambwe n’obukugu obwakozesebwa kisoboka okuba nga abaakikola batendeke nnyo nga si bano abakwatibwa ebiseera bino nti be baamutta?

2. Abatemu abakuba omuntu amasasi 30 n’omusobyo nga neerimu limala okumutta baba balina obubaka bwe basindika eri abasigaddewo kuba attiddwa aba takyawulira. Bano abakwatibwa kati bafaanana okuba n’ekigendererwa ekyo? Kirabika kizibu.

3. Omutemu akuba amasasi agasoba mu 80 n’afuna n’obudde obuggula emmotoka okukakasa oba baakubye bafudde aba yeesiga ki? Nti alina obukakafu nti tajja kukwatibwa oba abakwatibwako baba bamanyi misoni yonna ne basooka babawa ggaapu?

4. Omutemu owa bulijjo nga bano ne bakukunula mu loogi asobola okuba n’obumalirivu obwo nga tamanyi ntambula ya baserikale balawuna naddala aba Flying squad?

5. We battira Kaweesi waaliwo amayumba amalala ag’ebikomera, omutemu owa bulijjo embavu eziyimirira mu kifo ekyo n’akuba amasasi?

6. Kkulambiro si kyalo nnyo naye ne bwe kyandibadde kyalo, kizibu omuntu okubulira ku kyalo ng’abebyokwerinda bamuyigga. Kijja kitya nti ettemu olwamala okuggwa tewali kyakolebwa kusalako kitundu kyonna n’okuziba enguudo okuyigga abatemu?

7. Abatemu abalina obuvumu obutaayiza emisana ku ssaawa ssatu nga gwe balumba mukulu mu ggwanga tebayinza kuba baabulijjo, tebasobola kuba ba ADF, tebayinza kwekwekukuma mu loogi! Bagundi temutulimba!

8. Ani yasooka okutegeera nti Afande Kaweesi bamusse? Yategeera atya kuba emmotoka ye yali efaanana eza bulijjo ez’abakungu ba poliisi. Ate mu kumutta yali yeevunise? Amawulire gaasaasana tewannayita na ddakiika ng’atemuddwa, waliwo eyali ategekeddwa okuba omugenzi nga ye yali akimanyi nti agenda kuttibwa?

9. Ani yayimiriza emmotoka ya Kaweesi bulungi mu kkubo n’etawaba ng’ate yali ekubiddwa amasasi n’emipiira?

10. Lwaki omugenzi bweyamanya nti waliwo abamulondoola okumutta teyategeeza ku bakamaabe ne bamusalira amagezi?

11. Bw’aba yabategeeza, lwaki tebalina kye baakolawo ku bantu be yali abagambye?

12. Wandiberawo be yali yeekengera mu bakulu banne mu poliisi bwe butaloopa nsonga mu kakiiko ka poliisi n’azibuulira ku munnaddiini omu?

13. Lwaki bwe yakizuula nti baagala kumutta teyasaba kumwongera ku bukuumi n’aweebwa Kabangali emuggulira ekkubo osanga abaserikale bandyekanze omulabe nga tanamutusaako bulabe.

14. Ng’amaze okutemulwa, kiki ekyatwala owa poliisi mu kifo okuyoola omusaayi ng’abanoonyereza baamaze dda okuggyawo byebetaaga?

15. Lwaki poliisi yegaana abaali bayoola omusaayi nga baabakwata n’abantu ku kyalo balaba?

16. Lwaki abantu abaayogerwako nti be baali batumizza omusaayi ogwo tebaliiko kyabakolebwako wadde okubabuulirizaako?

17. Ebigambo bya mukoddomiwe, Ssemmuli bye yayogera mu Klezia e Lubaga nti abatemu baaliwo mu Klezia biraga nti abatemu bandibeera nga bamanyiddwa?

18. Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura bye yayogera mu lumbe e Kulambiro nti abatemu b’abalalika okubakuba awaluma bituufu obwa kwali kugumaaza?

19. Bwe baabalaalika lwaki tebabakwatirawo ng’ekiwundu tekinnasamba ddagala? 20. Kiki ekyaviirako Kaweesi eyali akulira okutendeka abaserikale mu poliisi okuttibwa nga teyerwanyeeko?

21. Lwaki mmotoka z’abakulu mu poliisi tezirina kkamera ziraba bigenda mu maaso mu kkubo nga n’amakampuni amatono gasobola okubeera ne tekinologiya ono.

22. Ebifaananyi poliisi bye yafulumya mu kiro Kaweesi lwe yatemulwa ddala bannannyinibyo gye bali?

23. Lwaki poliisi yakolera mu kupapa okufulumya ebifaananyi bino nga nebyeyasooka okufulumya ku Kagezi omutemu takwatibwanga?

24. Ye ebifaananyi poliisi byeyafulumya ani yaliwo neyekaanya abatemu n’abannyonnyola enfaanana yabwo bombi ye nebatamutta?

25. Abatemu obuvumu babuggyawa obutta omukungu wa poliisi nebasooka bamala n’okukakasa nsi afudde nebakuba n’ebifaananyi nga poliisi y’okukitundu eri kinnya nampindi newabulawo omuserikale abenganga?

26. Lwaki mmotoka ya Kaweesi yasangibwa mu luguudo ng’eyimiridde wakati ng’eringa esimbiddwawo mu ddembe?

27. Wandibanga waliwo omuntu omulala munda eyakuba omukuumi, ddereeva ne Kaweesi amasasi n’alyoka afuluma?

28. Lwaki tewaaliwo nsiitaano yonna eraga nti emmotoka yawaba oluvannyuma lw’okukubwa omupiira?

29. Kyandiba nga abatemu basooka kutta Kaweesi, omukuumi ne ddereeva nebalyoka bakuba omupiira essasi?

30. Mubatemu mwandibamu omuntu gwebaali bamanyi nga yasooka kubayimiriza emmotoka kwekusangibwa ng’emiridde n’obutabaako nsitaano yonna?

31. Ddereeva yandiba nga yali mu lukwe mu kuwanyisiganya amasasi naye negamutwaliramu mu butanwa?

32. Kiki ekiyinza okubanga kyekyaviirako omuserikale ataalina ntalo za lwana wadde enziro ku mugongo okuttibwa?

33. Abatemu abatta bwebaba baali ku bodaboda ng’aba bodaboda abasinga mu Kampala bambega ba poliisi kitegezaaki?

34. Poliisi bwebeera emanyi obubinja bw’abayaaye abakola efujjo ku bakulu mu ggwanga lwaki si beesooka okwekengera n’okukwata? 35. Okuteeka ku nguudo kkamera ddala zirina kyezandiyambye okulaba abatemu mu nsokolo Kaweesi gyebaamuttira?

36. Ekiragiro kya pulezidenti okusootinga aba bodaboda abagoberera emmotoka z’abakulu temufiiremu basaalumanya?

37. Lwaki fayiro y’omusango ekyali mu mikono gya Olaa nga waliwo kamisona w’ekitongole ekikola ku misango egirimu ettemu mu poliisi?

38. Ddala waliwo ekinaazuulibwa ku kuttibwa kwa |Kaweesi ng’abantu bonna abazze batemulwa lipooti ku nfa yabwe tezifulumizibwanga nga n’abatemu mpawo yali akwatiddwa?

39. Ddala luno lwabadde lukwe olwavudde munda mu poliisi oba bayekera ba ADF nga bwe baabyogedde?

40. Kituufu wabadde engeri eyenjawulo pulezidenti Museveni gy’abadde ayagalamu Kaweesi eyamuviiriddeko okuttibwa?

41. Lwaki aba famire tebalina bwesige mu poliisi ku musango gwa Kaweesi?

42. Ani ddala eyasse Kaweesi n’amulessa amabujje ku nsi nga tegalina taata?

43. Emmundu eyakozeseddwa okutta Kaweesi abatemu abatali munda mu bitongole bya byakwerinda baagifunye batya nga si nnyingi mu ggwanga?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...

Sebaggala ng’azina ne mukyala we Mosh (ono yafa).

Sebaggala: Omusajja w'abaky...

ABAKYALA n’abaana ba Hajji Sebaggala bamuwaako obujulizi ng’abadde n’okwagala okwenjawulo. Abadde akisa ebyama...