TOP

Omuwabuzi wa kkooti asabye okwejjeereza Kazinda

Added 31st March 2017

Omuwabuzi wa kkooti asabye omulamuzi Lawrence Gidudu, awozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo okwejjeereza Geoffrey Kazinda, eyali omubazi w'ebitabo omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda wamu ne Hussein Katumwa, eyali maneja w'essundiro ly'amafufa erya Caltex e Ntinda.

 Kazinda ng'atwalibwa mu kkooti gye buvuddeko

Kazinda ng'atwalibwa mu kkooti gye buvuddeko

BYA JUDITH NALUGWA

Vicent Ferrer Akech era asabye okusiba Beatrice Kezaabu, eyali omuwandiisi mu ofiisi ya katikkiro wamu ne Shamim Masembe, nnannyini  ssundiro ly'amafuta erya caltex.

Abana bano bavunanibwa emisango etaano nga gyonna gyekuusa Ku bubbi n'okujingirira ebiwandiiko nga gino bagizza mu 2010.

Akech ategeezezza kkooti nti oludda oluwaabi luleese obujulizi obumala okusingisa Kezaabu Beatrice ne Shamim Masembe emisango.

Kezaabu, Masembe, Geoffrey Kazinda ne Hussein Katumwa bavunaanibwa emisango etaano okuli okwekobaana okubba, obubbi, okujingirira ebiwandiiko wamu n'okusasaanya ebiwandiiko ebifu.
Kigambibwa nti bano emisango gino baagizza mu 2010.

Akech agambye nti akkiriziganya n'abajuluzi abaleetebwa mu kkooti nti ne ssente z'amafuta obukadde 316 zabbibwa. Bagamba  nti amafuta baali bagateeka mu mmotoka za Gavumenti ne pikipiiki kyokka nga zino tezaaliyo.

Omuwabuzi mu kusaba okwejjeereza Kazinda agambye nti mu kulowooza kwe, Kazinda teyafuna ku ssente zino ne Katumwa gw'agambye nti teyasoma era yali tasobola kutaputa biwandiiko.

Kinnajjukirwa nti mu 2013, Kazinda yasingisibwa omusango gw'okujingirira omukono gw'eyali omuwandiisi w'enkalakkalira, Pius Bigirimana n'asibwa emyaka 5 era ng'ekibonerezo kino yakimalayo kyokka akyali ku meere e Luzira ku misango emirala mu kkooti y'emu mu maaso g'omulamuzi Margret Tibulya ng'avunaanibwa n'abakungu mu Minisitule y'Ebyensimbi okubba obuwumbi 21 ezaali ez'okuyamba abantu abaakosebwa olutalo mu Northern Uganda.

Omulamuzi, Lawrence Gidudu waakuwa ensala ye nga 31 May omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.