TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omugagga w'e Kololo asindiridde abagenze okumubba amasasi n'atta omu

Omugagga w'e Kololo asindiridde abagenze okumubba amasasi n'atta omu

Added 7th April 2017

OMUGAGGA Obadiah Ntebekaine abeera ku kibanja nnamba 9, ku luguudo lwa Kaggwa Close e Kololo akubye ababbi abaabadde bamuyingiridde n’attako omu ku Lwokusatu ekiro.

 Oluguudo lw'e Kololo. EKIFAABNANYI KIGGYIDDWA MU MUKUTU GWA : http://mapio.net

Oluguudo lw'e Kololo. EKIFAABNANYI KIGGYIDDWA MU MUKUTU GWA : http://mapio.net

Ntebekaine yategeezezza poliisi nti, ekibinja ky’abavubuka baabuuse ne bagwa munda mu kikomera kye ku ssaawa 10:00 nga bukya naye kwe kubasasiramu amasasi ne gattako omu.

Wabula poliisi yatankanye sitetimenti ya Ntebekaine kubanga kigambibwa nti alina abakuumi bana abalina emmundu, kyazze kitya okubayitako ye n’atuuka okubeekubira.

Kiteeberezebwa nti, omuvubuka teyattiddwa mu ngeri ya kwetaasa wabula yakwatiddwa abakuumi abaamwambudde ne bamukuba.

YAZZE YEESIIZE BUTTO:

Poliisi yategeezezza nti omulambo gw’omuvubuka ono gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi nga guli mu kawale ka munda kokka ate nga guliko butto.

Kigambibwa nti butto abavubuka ababbi bamwesiiga nga bagenda okubba kibayambe obutakwatibwa nga baseerera omubiri olwo kibanguyire okwemulula.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Emillian Kayima yakakasizza okuttibwa kw'omuvubuka ono atannamanyika mannya wadde kitundu gye yavudde n’ategeeza nti oluvannyuma lw’okukubibwa banne be yabadde nabo baasobodde okuwalampa ekikomera ne bagwa wabweru ne badduka.

Omulambo gw’omuvubuka ono poliisi y’e Kira Road yaguggyeewo n’egutwala mu ggwanika e Mulago.

Omugagga Obadiah y’omu ku bagagga abaamaanyi mu ggwanga kyokka nga teyeeraga nnyo mu bantu. Ssente asinga kuziggya mu kusuubuza mu Kikuubo n’ebintu ebirala mu Kampala n’ebweru wa Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...