TOP

Gavt. eggyeewo emisolo ku byobulimi n'obulunzi

Added 11th April 2017

GAVUMENTI etegekedde abalimi ettu mu bajeti empya ey’omwaka 2017/18 egenda okusomwa mu June, 2017.

 Minisita Matia Kasaija

Minisita Matia Kasaija

Bajeti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/18 ey’obuwumbi 28,900 yayanjuddwa mu Palamenti wiiki awedde n’esindikibwa mu kakiiko ka Palamenti akakola ku nsonga za bajeti akakulirwa Amos Lugoloobi (Ntenjeru North) okugyekebejja esobole okuyisibwa ng’olwa May 31, 2017 terunnayita.

Mu kwanjulira Palamenti ebiri mu bajeti, Minisita Matia Kasaija yayanjuliddeko emisolo emipya, egigenda okulinnyisibwa n’emisolo egigenda okuggyibwawo.

Egimu ku misolo egigenda okuggyibwawo mu bajeti, gikwata ku byabulimi nga gavumenti egiggyeewo okuyamba abalimi okusitula omutindo n’obungi bw’ebintu bye balima basobole okufuna mu bulimi n’obulunzi.

Emisolo ku byobulimi egiggyiddwaawo gissiddwa mu bbago ly’etteeka eriyitibwa The Value Added Tax (amendment) Bill 2017, Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija lye yataddeko omukono nga March 30, 2017.

EMMERE Y’ENKOKO N’EBISOLO EGGYIDDWAAKO VAT

Mu bbago ly’etteeka eryo, gavumenti egenda kuggyawo omusolo gwa VAT (ogw’ebitundu 18 ku 100) ku mmere y’enkoko n’ebisolo n’ebirungu byayo. Omusolo guno gwali gwassibwa mu bajeti emyaka esatu egiyise era abalunzi baludde nga bagwemulugunyako.

Minisita Kasaija bw’anaaba asoma bajeti y’eggwanga mu June, agenda kunnyonnyola nti omusolo ku mmere y’ebisolo n’enkoko kuggyiddwaawo okuyamba abalimi okwongera ku bungi bw’ebintu ebiva mu bulunzi naddala ebisobola okutundibwa mu mawanga ag’ebweru.

EBIKOZESEBWA MU KUFUKIRIRA BISONYIYIDDWA OMUSOLO

Minisita Kasaija era ateekateeka okulangirira mu bajeti ejja ng’ebintu byonna ebikozesebwa mu kufukirira ebirime bwe bisonyiyiddwa omusolo ogwa VAT.

Ebikozesebwa mu kufukirira kuliko ebyuma ebiyitibwa ‘Sprinklers’, obuuma obukuba amazzi obuyitibwa ‘Pumps’, empiira, ppipa ne kalonda omulala.

Gye buvuddeko, Pulezidenti Museveni yatongoza kampeyini w’okufukirira ebirime ng’abalimi beeyambisa obucupa bwe basiba mu biti ne bitonnya amatondo g’amazzi.

BBAATULE BAZIGGYEEKO OMUSOLO

Ng’oggyeeko ebikozesebwa mu kufuuyira, gavumenti era egenda kuggyawo omusolo ku bbaatule n’amataala gaazo.

EBYOBULAMBUZI BABISONYIYE VAT

Abali mu bizinensi ez’Ebyobulambuzi, eno bajeti nabo yaabwe kubanga gavumenti ebisonyiye omusolo gwa VAT.

Abagenda okuganyulwa mu nteekateeka eno be balina mmotoka ezitambuza abalambuzi, abakola ogw’okutwala abalambuzi mu bifo ebyobulambuzi, n’okubatambuza mu ppaaka z’ebisolo wamu n’obuweereza obwekuusa ku byobulambuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...