
Minisita Kabafunzaki ng'ali ku kkooti y'abalyake. ekif: STEVEN MUSOKE
MINISITA w’ensonga z’abakozi, Herbert Kabafunzaki yeegaanye okulya enguzi ey’obukadde 5 okuva ku mugagga wa wooteri za Aya n'asindikibwa mu kkomera e Luzira okutuusa enkya ku Lwokusatu.
Kyokka ekyewuunyisizza kkooti y’abalyake n'abakenuzi, omuyambi we; Brain Mugabo olumusomedde omusango gw’okuyamba ku Minisita okukweka obujulizi, n'agukkiriza era n'agaana ne looya abadde yeewaddeyo okumuwolereza ku bwereere.
Mugabo kati ayolekedde okusibwa emyaka egitasukka 3 olw’okukkiriza omusango guno.
Ono ategeezezza kkooti nti ye yakweka ssente emabega w’entimbe za wooteri ya Serena mu Kampala oluvannyuma lw’okulaba nga Poliisi ebazinzeeko ye ne mukama we Kabafunzaki.
Agambye nti ssente zino zaali mu bbaasa y’akitaka era nga Kabafunzaki zaamuweebwa Omuyindi Muhammade Mohammad Hamid okumuyamba ku misango gy’okukabassanya omukozi we kyokka bino byonna Kabafunzaki abyegaanye.
Kabafunzaki asabye omulamuzi Agnes Alumu okweyimirirwa kyokka omulamuzi n'alagira atwalibwe e Luzira okutuusa enkya lw'anaasalawo obanga asaana okweyimirirwa.
Ye Mugabo atwaliddwa mu kkomera e Kigo ng'oludda oluwaabi bwe lwetegereza ensonga ezenjawulo kkooti esobole okumuwa ekibonerezo ekimugwana.