TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bye nayogedde ku Museveni ge mazima - Dr Stella Nyanzi

Bye nayogedde ku Museveni ge mazima - Dr Stella Nyanzi

Added 12th April 2017

DR STELLA Nyanzi yeesimbye mu maaso g’omulamuzi n’agamba: bye nnayogedde ku Museveni ge mazima. Saamuwemudde.

 Omu ku balooya ba Dr. Nyanzi ayitibwa Nicholas Opio ng’alina by'amunnyonnyola

Omu ku balooya ba Dr. Nyanzi ayitibwa Nicholas Opio ng’alina by'amunnyonnyola

Nze ndi kafulu azannyisa ebigambo okuggyayo amakulu. N’agattako okugeraageranya Museveni ku makugunyu tekitegeeza kumuvuma.

N’okumugeraageranya ku “rapist” tekitegeeza nti mukwasi w’abakazi, wabula nkozesa ebigambo ebyo okuggyayo amakulu g’ekyo kye mpandiikako.

“Ssebo omulamuzi, nze Nyanzi ddembe ki lye nnamalako Museveni? Ye Museveni y’alitumazeeko. Emyaka gy’atufugidde nga tusirise mu bulumi obungi ye y’asaana okuvunaanibwa si nze kubanga atufudde ekitagasa.

“ Tubonyeebonye mu ggwanga lyaffe kati mugamba mutya nti mmazeeko Museveni emirembe?”, bwe yabuuzizza mu kkooti y’omulamuzi James Ereemye ku Buganda Road ku Mmande.

Yavunaaniddwa emisango ebiriokukozesa obubi kompyuta n’awandiika n’okusasaanya ebigambo ebikyamu ng’akozesa olulimi oluwemula. N’okumalako emirembe Pulezidenti Museveni ng’amuwemula.

Bino biddiridde Nyanzi okukozesa omukutu gwa ‘facebook’ n’awandiika ku bintu ebyenjawulo ng’akozesa olulimi oluwemula ne yewaana nti ye Nnaalongo era olulimi lw’akozesa lwa Bwannaalongo.

Yalumba muka Museveni obutafaayo ku baana bawala mu bukulu bwe nga Minisita w’Ebyenjigiriza n’atabawa bikozesebwa nga bali mu nsonga.

N’atwaliramu ne Pulezidenti olw’okusuubiza okuwa abawala ebikozesebwa mu nsonga kyokka bukya alondebwa tabibawanga. Kkooti yajjudde n’abamu ne basigala bweru.

Omubaka Betty Nambooze n’Abazungu abawagizi ba Nyanzi be bamu ku baabaddewo.

Omulamuzi:Nyanzi otegeera lulimi ki?

Nyanzi: Ntegeera ennimi nnyingi naye tukozese Lungereza.

Omulamuzi: Amusomera omusango gw’okugeraageranya Museveni ku makugunyu. Omusango ogutedde?

Nyanzi bakira ayogerera waggulu ng’akanudde amaaso n’addamu: Nze ndi muwandiisi wa bitabo era noonyereza. Nkozesa ebigambo okuggyayo amakulu g’ekyo kye mba mpandiise. Kituufu Museveni nnamuyita amakugunyu era muyise ebintu bingi okuli okumugeraageranya ku musajja eyatomerwa endiga. Bwe mmuyita “rapist” sitegeeza kusobya ku bakazi wabula ntegeeza kusobya ku Konsitityusoni ya Uganda. Awo sirabawo musango. Ssebo omusango sigumanyi.

Omulamuzi: Amusomera omusango omulala ogw’okumalako Museveni eddembe ng’amuwandiikako. N’amubuuza:Ogutegedde era ogukkiriza?

Nyanzi: Owekitiibwa n’ogwo omusango sigumanyi era siguzzangako Olwo yabadde ayogerera waggulu.

Balooya be Isaac Ssemakadde, Nicholas Opio, Julius Galisonga ne Eron Kiiza baabadde bagezaako okumukkakkanya nga tawulira. Baabivuddeko ne bamutunuulira.

Awo we yalumbidde Mukyala Museveni n’amwogerako bye yayise okuyisa obubi eggwanga.

“Oba abantu abalala batya okwogera ekituufu nze kambe ssaddaaka, Nja kwogera” Oludda oluwaabi olwakulembeddwa Jonathan Muwaganya lwasoose kuwakanya kusomera Nyanzi misango kubanga alabika aliko ekikyamu ku mutwe, basooke kumutwala mu ddwaaliro akeberebwe.

N’agamba nti Nyanzi bwe yakwatibwa nga April 7, 2017 n’atwalibwa ku poliisi e Kira, bambega abaayogera naye baamusanga nga mukkakkamu ate waayitawo akaseera katono n’akubawo eggambo eddene ery’obuwemu ng’alinga aliko ekikyamu.

Ekirala alina enkola y’okweyambulira abantu mu lujjudde. Kino yakikola bwe yeeyambulira abayizi be e Makerere era n’awummuzibwa ku mulimu.

Ekikula kya Nyanzi n’emyaka gye 42, yandibadde n’ensonyi n’atasobola kweyambula. Kyokka yeeyambula taliiko kutya nga kiyinzika okuba ng’aliko ekikyamu.

Ekirala yali ajjanjabiddwako e Butabika era ekibagaanyi okufuna fayiro ye lwa kuba kyetaagisa kiragiro kya kkooti. Kyokka balooya baawakanyizza okutwala Nyanzi okumukebera omutwe kubanga omulamuzi y’alina okwesalirawo ng’asinziira ku ngeri omuntu gy’aba yeeyisizzaamu mu maaso ge.

Ne bagamba nti Nyanzi obudde bwonna bw’amaze mu kaguli abadde mukkakkamu ekiraga nti ategeera bulungi. Baasabye yeeyimirirwe.

Kyokka omulamuzi Ereemye n’alagira atwalibwe e Luzira okutuusa nga April 25, lw’anaawulira okusaba okumweyimirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...