TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abafera okutwala abantu ebweru Poliisi ebayodde: Babasanze ne paasipooti 50

Abafera okutwala abantu ebweru Poliisi ebayodde: Babasanze ne paasipooti 50

Added 12th April 2017

POLIISI y’e Nansana mu Wakiso ezinze kkampuni ya Umoja Travel Agency esangibwa ku Masitoowa mu Zooni ya West I, ebadde efera abantu ng’ebalimba okubatwala ebweru.

 Zainabu Kaddu nga bamutwala ku poliisi y’e Nansana.

Zainabu Kaddu nga bamutwala ku poliisi y’e Nansana.

Akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Nansana, Brian Kalumagayo yagenze ku kkampuni eno oluvannyuma lw’abantu okwekubira enduulu nga bagamba nti babaggyako ssente okubatwala ebweru kyokka ne batabatwala.

Poliisi yasanze akaseera akazibu okuyingira ofiisi ezaabadde zisibiddwa nga n’abakozi bagaanyi okuziggula nga bagamba nti tebaabadde na bisumuluzo biggulawo.

 Owa Poliisi ng'akutte kompyuta eyasangiddwa mu ofiisi

Baawaliriziddwa okusala kkufulu ne bayingira ne batandika okwaza. Baasoose kubabuuza bbaluwa ebakkiriza okutwala abantu ebweru nga tebagirina.

Mu ofiisi baasanzeemu paasipoota 50, ebifaananyi by’abavubuka nga biwandiikiddwaako emawanga gye baabasuubizza okubatwala kyokka nga kompyuta eyasangiddwa mu ofiisi bwe bagyekebejja tebaasanzeeko biwandiiko byonna bikwatagana na kutambuza bantu bweru.

Zainab Kaddu omu ku bakozi abaasangiddwaawo nga y’akulira abakozi yategeezezza nti kkampuni eno yatta omukago ne kkampuni ey’amaanyi ng’ewandiika abaagala okugenda ku kyeyo amannya ne bagawaayo nga bano be balina obuvunaanyizibwa okubafunira emirimu.

Ebifaananyi by'abamu ku baawaayo ssente okutwalibwa ebweru

Poliisi yabuuzizza Kaddu empapula ezikakasa bye yabadde ayogera n’ategeeza nga bw’atazirina kwe kumukwata n’emutwala ku poliisi y’e Nansana.

Kaddu mu kwewozaako yategeezezza nga bwe waliwo omuntu abasekeeterera okubasiba newankubadde nga bye bakola biri mu mateeka.

“Waliwo omuvubuka eyali atukolera n’afera omuwala nga kati y’atulimirira”, bwe yategeezezza.

Omu ku bali ku lukiiko lwa Zooni ya Nansana West I, Charles Kalema yategeezezza nga bwe bagenda okukolagana ne poliisi okumanya ebikwata ku kkampuni eno.

Ezimu ku paasipooti ezaasangiddwa mu ofiisi

 

Poliisi yategeezezza nti bwe banaazuula nga kkampuni eno ebadde efera abantu bajja kutwala bannyini yo mu kkooti bavunaanibwe.

N’agamba nti ne ofiisi zijja kuggalibwa nga bazudde ekituufu okutaasa abantu abalala abandibadde baferebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...