TOP

Maneja wa Agro Max e Luteete attiddwa mu bukambwe

Added 12th April 2017

YABADDE aggalawo ggeeti nga yaakayingiza mmotoka mu maka ge, abantu babiri ne bamutuukako. Eyabadde alina emmundu kwe kubuuza nti: Eddy y’ono omutuufu?” Oli n’amuddamu nti ye y’oyo,” olwo amasasi asatu ne gabwatuka okukkakkana nga nnyinimu bamusse.

 Omugenzi Lubega. Ku ddyo, ze densite ze

Omugenzi Lubega. Ku ddyo, ze densite ze

Douglas Lubega 44, abadde omumyuka w’omubazi w’ebitabo mu kkampuni ya Agro Max ‘U’ LTD esangibwa e Luteete ku luguudo lw’e Gayaza ye yattiddwa mu ngeri eno nga tafunye na mukisa gwa kwerwanako mu ekiro ekyakeesezza olwa Mmande.

Ettemu lino lyabadde Salaama mu zooni ya Kifamba mu munisipaali y’e Makindye omugenzi gy’abadde abeera.

Isma Kasule ow’ebyokwerinda mu kitundu, yategeezezza nti Lubega yakomyewo ku ssaawa nga 9:30 ez’ekiro ng’ali mu mmotoka nnamba UAF 611D Corona kibina ng’alimu n’omuwala ateeberezebwa okubeera muganzi we.

Lubega bwe yatuuse ku ggeeti n’avaamu n’aggulawo ggeeti n’ayingiza emmotoka era yabadde akomyewo okuggalawo ggeeti abatemu kwe kubasanga ku ggeeti nga bamulinze omu n’ayita munne nti “Eddy y’ono mmukube? Oli n’addamu nti ye.

Amangu ddala ne bamukuba amasasi n’agwa mu mulyango n’afiirawo.

Kasule agamba nti abamu ku baliraanwa ba Lubega baawulidde ng’omuwala omugenzi gwe yabadde naye alaajanira abatemu nti temumutta mumusonyiwe era bwe baamaze okumukuba amasasi n’agwa wansi ne bagenda n’omuwala.

Abatuuze abaalabye omuwala baagambye nti yabadde asibye ebiswayiiri.

Omwogezi wa poliisi, Emillian Kayima (ku kkono) ne Rogers Rwegabira (ku ddyo) e Salaama we battidde Lubega. Abapoliisi nga bayingira mu nnyumba omugenzi mw’abadde asula e Salaama. Omugenzi Lubega Densite za Lubega. Maneja wa Agro Max attiddwa

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emillian Kayima yagambye nti kiteeberezebwa nti omuwala Lubega gwe yabadde naye mu mmotoka wadde ayinza okubeera muganzi we naye kirabika yabadde mu kkobaane ly’okumutta era batandise omuyiggo abayambeko okubabuulira omutemu.

Yayongeddeko nti omugenzi Lubega baamukubye amasasi asatu ng’abiri baagamukubye mu kifuba, erimu ku mutwe ne ligaaniramu era yafiiriddewo.

Wabula n’okutuuka olunaku lw’eggulo baabadde bakyanoonya aba famire ya Lubega.

Abadde talina mukyala wa nkalakkalira era nga ne we baamuttidde omulambo gwe gwasangiddwa ne kondomu ssaako paketi ya sigala.

Kayima yeewuunyizza abatemu bano abasse Lubega ababadde bakozesa emmundu y’ekika kya pisito okubeera ng’omugenzi tebaamututteko kintu na kimu okuggyako amasimu ge.

Enju ye abatemu tebaagiggudde kutwala bintu birimu era poliisi ye yagimenye nga n’emmotoka baalese bagiggyeeko n’amataala.

Omugenzi abadde asula ku nnyumba za Rogers Rwegabira ku Salaama mu zooni ya Kifamba mu Makindye wabula naye yabadde tamanyi bimukwatako nnyo wadde omulimu omutuufu gw’akola.

Abapoliisi nga bayingira mu nnyumba omugenzi mw’abadde asula e Salaama.

 

Ettemu lino lyawalirizza n’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Frank Mwesige okutuukako mu kitundu kino wabula ng’abatuuze baabadde beemulugunya nti ettemu ly’emmundu lisusse okwetooloola Kampala, wabula poliisi ekyalemeddwa okukwata abatemu abatuufu.

Aduumira poliisi y’e Katwe, Frantile Rwamusayi yagambye nti balina omuvubuka omu ku baliraanwa b’omugenzi gwe yabadde ayogera naye ku ‘WhatsApp’ ssaako omuwala omulala gwe babadde batambuddeko naye emisana be banoonya babayambe mu kunoonyereza.

Vanessa Tandekwire, maneja avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu kkampuni ya Agro Max Ltd e Luteete omugenzi gy’abadde akolera yategeezezza nti Lubega abadde mukozi waabwe okumala omwaka gumu n’ekitundu.

Abadde maneja waabwe avunaanyizibwa ku byensimbi. Okufa kwe baakutegedde ku makya ga Mmande, oluvannyuma lw’omuntu gwe bataategedde okukubira akulira kkampuni Ronnie Oved essimu n’amutegeeza ebyabadde biguddewo, kwe kugenda ku poliisi e Katwe n’abaloopera ettemu eryakoleddwa ku mukozi we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...