TOP

Abaasobezza ku mwana ne bamutta babakutte

Added 20th April 2017

POLIISI y’e Katwe ekutte abavubuka abateeberezebwa okuba nga baasobeza ku mwana owe’myaka omukaaga ne bamutta omulambo ne bagussa mu buliri ng’alinga eyeebase.

 Abavubuka abaakwatiddwa.

Abavubuka abaakwatiddwa.

Esther Nannyonjo, muwala wa Lillian Namwanje owe Najjanankumbi mu Namuli Zooni mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo ye yatiddwa mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande nga nnyina agenze okucakala mu ndongo eyabadde ku Freedom City e Namasuba.

Maama w’omwana Namwajje yategeezezza nti awaka yavuddewo ku ssaawa 1:00 eyakawugeezi omwana n’amulekera mutabani we, Francis Bidda eyabadde ne mikwano gye egyabadde gizze okumukyalira nga yabalese mu nnyumba ng’omwana azannya.

“Nakomyewo nga nkooye ne neebaka mu ntebe ng’obudde bwe bukedde ne ndaba omwana wange nga tazuukuka kwe kusalawo okugenda ku buliri gye yabadde yeebasse.

Kyambuuseeko bwe namukutteeko nga mukalu waggyo”, Namwanje bwe yategeezezza.

Yagambye nti yakubye enduulu nga tayinza kukkiriza nti omwana we afudde. Yasanze bamuzinze mu bulangiti era yagenze okumukebera ng’alina enkwagulo mu bulago n’amanya nti baamutuze.

Yategeezezza nti bwe yakubye nduulu abantu ne bajja ne bakebera omwana baakizudde ng’abaamusse baasoose kumusobyako.

Abatuuze baakutte Francis Bidda nga mwana wa mwanyina wa Namwajje (amuyita ssenga) ne mukwano gwe Michael Jjuuko kyokka omulala yeemuludde ku batuuze n’adduka.

Abaakwatiddwa abatuuze baabadde baagala okubamiza omusu wabula poliisi n’ebataasa.

Abatuuze baayazizza ennyumba abavubuka bano mwe baasoberezzako omwana ne basanga obuliri bwa Bidda nga buliko omusaayi era nga Bidda alina n’enkwagulo mu bulago n’omusaayi ku lugoye lwe yabadde ayabadde.

Bano baakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi y’e Katwe gye bagguddwako emisango bbiri ogw’okutta n’okusobya ku mwana ku fayiro nnamba SD REF 18/17/04/2017, nga poliisi etandise okubanoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...