TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Eyakutte mukazi we n'omusiguze alaajanye: 'Grace onnanze ki okwebaka n'owattakisi!'

Eyakutte mukazi we n'omusiguze alaajanye: 'Grace onnanze ki okwebaka n'owattakisi!'

Added 23rd April 2017

KAMADA Maiga yakedde kutwala mmaali ye mu katale e Katwe.

 Abantu nga bakuba Mulindwa (ku ddyo) olube. Emabega ku ddyo ye Kamada, nnannyini mukazi. Ku ddyo, Kamada Maiga nga yeenyola ne mukazi we Grace gwe yasanze asinda omukwano ne Mulindwa omuvuzi wa takisi.

Abantu nga bakuba Mulindwa (ku ddyo) olube. Emabega ku ddyo ye Kamada, nnannyini mukazi. Ku ddyo, Kamada Maiga nga yeenyola ne mukazi we Grace gwe yasanze asinda omukwano ne Mulindwa omuvuzi wa takisi.

Obutafaananako nga bulijjo, ku luno bakasitoma baagimazeewo mangu n’asalawo adde awaka yeebake engeri gye yabadde akedde ennyo ng’ate talina ky’akyakola mu katale.

Ekyamuggye enviiri ku mutwe, kwe kutuuka ku nju n’awulira amaloboozi mu kisenge nga mulimu okusiiyiriza okutabuddwaamu n’okudoodooma.

Yalabye takyasobola kugumiikiriza maloboozi gaabadde munda, kwe kukwata ekinyolo n’asibiramu abaabadde bafudde enju ye empuku ya sitaani n’ayita owa LC. Maiga atunda bikajjo mu katale k’e Katwe.

Mukazi we obwedda gw’ayita Grace, yamusanze agabira Fred Mulindwa, omuvuzi wa takisi ebyalo mu nju ye esangibwa mu Zooni ya Kapeke mu munisipaali y’e Makindye.

Kamada obwedda ayogera nga bwe yeesooza, yagambye nti bulijjo akeera essaawa 11:00 ez’oku makya n’agenda okutunda ebikajjo e Katwe asobole okufuna ssente ezirabirira mukazi we gw’alinamu omwana.

Kyokka ku Lwokuna ku makya abaguzi baamwanguyirizza omulimu n’asalawo adde eka awummule kyokka yasanze Grace ali na wa sajja lya takisi beerigomba!

Kamada agamba nti amaze ne Grace emyaka 15 kyokka aludde ng’awulira ehhambo nti waliwo omusajja ‘kanyama’ amubojjerera.

“Grace ddala kiki kye sikuwa? N’oyenda ku wa takisi ng’ate owulira nti tebayisa sikaati! Oyagala kunzita...?” Okwogera bino, baabadde bamaze okuggulawo ng’era bwe yeenyoola ne Grace amutunuze mu kkamera aswalire ddala.

Aba LC nga bali n’abatuuze baakutte omusiguze ne Grace ne babawalaawala okubatuusa ku poliisi era obwedda buli we bayita bakuba ddereeva wa takisi olube ne Grace ng’abalala bwe babuuza omukazi ku ‘simoolo sayizi’ ow’ebikajjo ne kanyama wa takisi ani asinga okucanga akapiira!

Omusiguze Fred Mulindwa bwe yatuuse ku poliisi y’e Katwe mu katale, yakkirizza okwenda ku Grace kyokka n’asaba bamusonyiwe.

MPA EMITWALO 50 NKUSONYIWE

Kamada yasabye omusiguze ssente emitwalo 50 omukazi amumulekere.

Mulindwa yagambye nti ssente ze bamusaba tazirina kyokka n’agattako okukinagguka nti; Nange omukazi ndudde nga muteekamu ssente zange.

Grace mu kwewozaako yagambye nti Fred y’amumalako ennaku kuba bba akeera nnyo n’amuleka mu mpewo y’oku makya.

Charles Kyebakola, akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Katwe mu Katale yategeezezza nti Mulindwa ekikolwa kye yakoze kya bujoozi okwagala muka munne ate mu nju eteri yiye.

Yasabye omusiguze ne Kamada bategeeragane. Grace yagambye tadda wa Kamada.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...