TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Tebamatidde ku ngabanya ya ssente z'enguudo mu Bajeti erinze okuyisibwa

Tebamatidde ku ngabanya ya ssente z'enguudo mu Bajeti erinze okuyisibwa

Added 23rd April 2017

GAVUMENTI eyongedde okuwa Minisitule ey’Ebyenguudo n’emirimu omutemwa ogusinga obunene mu bajeti y’eggwanga.

 Oluguudo lwa Northern Bypass

Oluguudo lwa Northern Bypass

 
Ku buwumbi 28,900, eza bajeti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/18, Minisitule ey’Ebyenguudo egenda kutwalako obuwumbi 4,631 n’obukadde 200.
 
Minisita w’Ebyenguudo Ying. Monica Ntege Azuba yayanjudde bajeti ya Minisitule eno mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’emirimu okugyetegereza eyisibwe mu bajeti y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/18.
 
Obuwumbi buno 4,631 n’obukadde 200 eza Minisitule ey’Ebyenguudo zigabanyiziddwa ziti;
  • Ekitongole ky’Ebyenguudo ekya UNRA kigenda kutwala obuwumbi 3,800.
  • Ensawo ya Gavumenti Eyebyenguudo egenda kutwala obuwumbi 417 n’obukadde 413
  • Enguudo z’omu Kampala eza KCCA zaakutwala obuwumbi 95 n’obukadde 605.
  • Enguudo mu disitulikiti ezikolewa Gavumenti Ezeebitundu zigenda kutwala obuwumbi 22 n’obukadde 840.
  • Ekitebe kya Minisitule ey’Ebyenguudo kigenda kufuna obuwumbi 528 n’obukadde 942.
 
Mu kiseera kino ababaka b'akakiiko ka Palamenti akola ku nsonga za bajeti akakulirwa Amos Lugoloobi (Ntenjeru North) bali mu kwekebejja Bajeti y’eggwanga esobole okuyisibwa Palamenti ng’olwa May 31, 2017 terunnayita.
 
Minisita w’Ebyensimbi, Matia Kasaija yayanjulira Palamenti Bajeti ey’omwaka 2017/18 ya buwumbi 28,900 Sipiika Kadaga n’agisindika mu kakiiko ka Lugoloobi okugyetegereza.
 
Bajeti za minisitule endala zonna zigenda kusalibwako kyokka eya Minisitule y’Ebyenguudo n’Ebyokwerinda zigenda kulinnya. Bajeti empya ey’Ebyenguudo agenda kulinnya okuva ku buwumbi 3,823 n’obukadde 800 okutuuka ku buwumbi obuwumbi 4,631 n’obukadde 200.
 
ENGUUDO EZIGENDA OKUSSIBWAKO ESSIRA:
 
Minisita Kasaija yategeezezza nti, Gavumenti egenda kussa essira ku kukola enguudo kkumi eziri mu bitundu by’e Bunyoro ewasimwa amafuta nga kuliko; Hoima - Butiaba - Wanseko, Masindi - Biiso, Masindi - Bugungu via Murchison Falls, Kaseeta - Lweera via Bugoma Forest, Hohwa - Nyairongo - Kyarusesa, Wanseko - Bugungu, Buhimba - Nyarweyo - Kakindo - Kakumiro - Mubende, Lusalira - Nkonge - Sembabule, Kyotera - Rakai ne Kabale - Kaziramfumbi.
 
Wabula ababaka okwabadde Ann Maria Nankabirwa (mukazi Kyankwanzi) beemulugunyizza ku kya Gavumenti okubuuka enguudo eziri mu disitulikiti ezziriraanye ekitundu ky’e Bunyoro ate nga mwe mugenda okuyisibwa amafuta.
 
Yagambye nti amafuta gagenda kuyita mu bitundu nga Busunju ne Kiboga, kyokka tewali kkubo na limu ligenda kukolebwa.
 
Yagasseeko nti waliwo ebikozesebwa ebirina okuyingizibwa mu ggwanga nga biyitira Busia, kyokka nayo tewali luguudo luteereddwaamu.
 
ENGUUDO ENDALA
 
Mu bajeti ejja, Minisita yataddemu n’enguudo endala ezigenda okukolebwa nga kuliko ez’okuddaabirizibwa n’ez'okuzimbibwa n’ezigenda okumalirizibwa.
 
Masaka - Bukakata, Muyembe - Moroto - Kotido lwa kukolebwa dizayini (kkiromita 290) ate okuddaabiriza kuliko; Nyakahita - Ibanda - Fort Portal (kkiromita 208).
Mu z'okumaliriza kuliko;
 
Mukono - Katosi - Nyenga (kkiromita 72), Mpigi - Kabulasokke - Maddu (kkiromita135), Mbarara - Kikagata (kkiromita 70), Ntungamo - Mirama Hills (kkiromita 37), Kapchorwa - Suam (kkiromita 77), Kyenjojo - Hoima - Masindi-Kigumba (kkiromita 238), Mbarara - Katuna (kkiromita 155), Hoima - Wanseko (kkiromita 83), Kampala Entebbe Express Highway, Musita - Lumino - Busia/Majanji, Olwiyo - Gulu - Kitgum, Mubende - Kakumiro - Kagadi, Kampala Northern Bypass Phase II.
 
Endala Kampala - Jinja Expressway, Namilyango - Seeta, Tirinyi-Pallisa - Kumi/Kamonkoli, Rukungiri - Kihihi - Ishasha/Kanungu, Mbale - Bubulo - Lwakhakha, Kampala Flyover, Muyembe - Nakapiripirit (kkiromita 92), Kibuye - Busega - Mpigi, Nyendo - Sembabule (kkiromita 48) ne Ishaka - Kagamba (35).
 
MINISITULE EKYETAAGA SSENTE
 
Wadde Minisitule y’Ebyenguudo y'esinze okufuna ssente, minisita Azuba yagambye nti wakyaliwo obwetaavu kubanga beetaaga;
 
1 Obuwumbi 50 ez’okuzzaawo kkampuni y’ennyonnyi eya Uganda Airlines n’okusitula omutindo gw’ekisaawe ky’e Ntebe n’ebintu ebirala ebikwata ku ntambula z’ennyonnyi.
 
2 Obuwumbi 900 ez'okuzimba oluguudo lw'eggaali y'omukka.
 
3 Obuwumbi 281 n’obukadde 453 ez’okugula ettaka okuzimbako n’okuddaabiriza enguudo.
 
4 Obuwumbi 33 okuzimba n’okuddaabiriza entindo mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo.
 
5 Obuwumbi 993 ez’okukola enguudo zonna ennene.
 
6 Obuwumbi 79 n’obukadde 600 ez’okukola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...