TOP

Kayihura akyusizza aboogezi ba poliisi mu ggwanga

Added 23rd April 2017

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura ayongedde okukola enkyukakyuka mu poliisi bw’akyusizza aboogezi ba poliisi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

 Gen. Kale Kayihura

Gen. Kale Kayihura

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga April 21, 2017 nga kiteekeddwaako omukono gw’omumyuka wa Gen. Kayihura, Okoth Ochola abasirikale 17 be baakyusiddwa wamu n’okutondawo ofiisi endala.

Enteekateeka y’okukyusa aboogezi ba poliisi yateekebwateekebwa omugenzi Andrew Felix Kaweesi.

ACP Charles Ssebambulidde yafuuliddwa omwogezi w’ekitongole ky’ebidduka, SP Lameck Kigozi abadde omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Sezzibwa yatwaliddwa okwogerera poliisi mu kitundu ky’e Masaka (Greater Masaka), SP Daina Nandawula yaggyiddwa e Masaka n’atwalibwa e Jinja.

SP Samson Lubega yaggyiddwa e Jinja n’atwalibwa ku kitebe kya poliisi okukwasaganya emirimu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku baserikale n’ebikwekweto, SP Vincent Ssekate yaggyiddwa e Luweero n’atwalibwa okukwasaganya emirimu mu poliisi y’ensi yonna mu kitongole ekinoonyereza ku misango.

ASP Paul Kangavve abadde omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yatwaliddwa okubeera omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Luweero (Savanah), ASP Sophie Kaggwa Naggayi yatwaliddwa okukwasaganya emirimu mu kitongole kya tekinologiya, ASP Mansoor Sowedi yaggyiddwa e Rwenzori n’atwalibwa okubeera omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon.

ASP Evas Ainomugisha yatwaliddwa mu kitongole ky’amafuta, ekitongole ekirwanyisa obubbi bw’ente n’embeera y’abasirikale, ASP Julius Hakiza yatwaliddwa okubeera omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Mbarara ( Rwizi) ASP Collins Agaba yafuuliddwa omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro.

ASP Ritah Nagaddya yafuuliddwa omwogezi w’ekitongole ekirwanyisa obutujju, C/ASP Hellen Butoto yafuuliddwa omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Sezzibwa, C/ASP Samson Kasasira yaggyiddwa e Nakaseke n’atwalibwa okwogerera poliisi mu kitundu kya Albertine , C/ASP Luke Owoyesigyire yafuuliddwa omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Greater Bushenyi.

C/ASP Rogers Taitika yatwaliddwa okwogerera poliisi mu kitundu kya Sipi, C/ASP Mary Nankinga yaggyiddwa e Jinja n’atwalibwa ku kitebe kya poliisi nga y’avunaanyizibwa ku mutimbagano gwa poliisi okumanya ebigendako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Henry Mayanja akomyewo na n...

OMUKUBI  w'ennanga, Henry Mayanja akomyewo na nkuba empya. Afulumizza oluyimba olusuusuuta pulezidenti n'ekibiina...

Rema Namakula ne mukwano gwe Namulondo

Rema asabidde mukwano gwe N...

Rema Namakula kirabika akooye ababuuza ‘okupeeka mukwano gwe Evelyn Namulondo omusajja, amusabidde Katonda amuwe...

Henry Mayanja.

Henry Mayanja afulumizza ol...

OMUKUBI  w'ennanga, Henry Mayanja akomyewo na nkuba mpya. Afulumizza oluyimba olusuusuuta Pulezidenti n'ekibiina...

Vision Group eraze amagoba ...

KKAMPUNI ya New Vision etwala Bukedde erangiridde nti omwaka gw'ebyensimbi oguwedde, esasudde 18/- buli mugabo....

Vision Group ekoze amagoba ...

KAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde erangiridde nga bwekoze amagoba ga buwumbi bubiri n'obukadde 700 mu...