TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bano 13 abavunaaniddwa be batta Andrew Felix Kaweesi?

Bano 13 abavunaaniddwa be batta Andrew Felix Kaweesi?

Added 23rd April 2017

KU basajja 13 abaaleeteddwa mu kkooti ne basomerwa omusango gw’okutta Kaweesi kuliko bana ababadde babeera ennyo ku Muzikiti gw’oku William mu Kampala era abamu we baabakwatira ate abalala baabaggya mu maka gaabwe.

Baasimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi Noah Ssajjabbi owa kkooti y’eddaala erisooka e Nakawa ne basomerwa emisango etaano okuli:

1 Okutta AIGP Andrew Felix Kaweesi nga March 17, 2017 e Kulambiro mu Kampala

2 Okutta Cpl. Kenneth Erau nga March 17, 2017 eyali akuuma Kaweesi

3 Okutta Cpl. Godfrey Wambewo ng’ono ye yali ddereeva wa Kaweesi

4 Okubba emmundu bbiri okuli ey’ekika kya SMG ne piisito eza Cpl. Erau (nga bamaze okumutta)

5 Okwenyigira mu bikolwa eby’ekitujju ebikontana n’etteeka

7 akatundu 1(a) ne 2(b) Baabaleese mu kkooti ku Lwokutaano ku ssaawa nga 8:30 ez’emisana wakati mu bukuumi obw’enjawulo era abaserikale okwabadde aba poliisi, abajaasi ba UPDF, JAT ne bambega okuva mu ESO, ISO ne CMI beebunguludde kkooti.

Baafubye okuziyiza bannamawulire okufuna ebifaananyi by’abavunaanibwa abaalabise nga baabadde bagonvu era abamu nga bawulubadde mu ffeesi n’ebikuyiro ku mikono n’amagulu. Kkooti yabaddemu baserikale bokka mpozzi ne bannamawulire abatono ddala.

Tewaabaddewo wa luganda lw’abantu abaakwatiddwa wadde n’omu kubanga teri yategedde nti baabadde baakuleetebwa mu kkooti.

Bonna baabaleetedde ku mpingu era baazibaggyeeko nga bayingizibwa kkooti, kyokka okubasomera emisango olwawedde ne babazza ku mpingu.

Omulamuzi Ssajjabbi olwamaze okusomera abasajja 13 emisango, n’abategeeza nti emisango gyonna gye bavunaanibwa gya nnaggomola egiwulirwa Kkooti Enkulu yokka era teyabakkirizza kubaako kye boogera, n’alagira batwalibwe ku limanda.

Ssajjabbi yabategeezezza nti, wakati wa January ne March 2017, babadde beenyigira mu butujju mu bitundu bya Mukono, Wakiso, Busia, Kampala ne Tororo.

Omuwaabi wa Gavumenti Ann Ntimba yabadde amaze okutegeeza Omulamuzi nti poliisi ekyakuhhaanya obujulizi ku bantu abo bonna 13 ne bannaabwe abalala abatannakwatibwa abeenyigira mu kutta Kaweesi ne banne.

Ekibuuzo ekinene kkooti ky’erindiriddwa okusalawo ku bantu bano kiri kimu: Bano be batta Kaweesi?

Omulamuzi Ssajjabbi yabasindise ku limanda okutuusa nga May 5 omwaka guno lwe bagenda okukomezebwawo mu kkooti eno baddemu okusomerwa emisango n’omuwaabi wa Gavumenti alage we batuuse mu kunoonyereza.

Abasajja bano nga bali mu kaguli mu kkooti e Nakawa.

 

BABASIBIDDE KIREKA

Mu kubaleeta mu kkooti, baggyiddwa Nalufenya – Jinja gye bamaze ebbanga lya mwezi mulamba nga babuuzibwa akana n’akataano ku kutemula Kaweesi, Erau ne Wambewo abaakubwa amasasi agasukka mu 70 ne battibwa emisana ttuku ku ssaawa nga 3:30 ez’oku makya.

Mu be baaleese mwe mwabadde ne Yusuf Mugerwa gwe baakwatira mu makaage e Kasangati mu Kazinga Zooni ne pikipiki bbiri ne ziteekebwako nnamba y’omusango gwa fayiro y’okutta Kaweesi ne banne CRB 222/2017.

Mugerwa yali ayokya byuma ng’akola amadirisa n’enziggi ku Yusuf Metal Works kyokka yakwatibwa mu kiro ekyakeesa Ssande nga March 19, 2017 era mukaziwe Fatia Namaato yanoonya bba okumala ekiseera okutuusa poliisi lwe yamutegeeza nti y’emulina era abadde akuumirwa Nalufenya.

Omu ku baddukanya Omuzikiti gwa William Street yagambye nti ku bantu abaaleeteddwa ku kkooti kuliko bana be baludde nabo nga basaalira mu Muzikiti ogwo era nga babeera mu Kampala ne Wakiso.

Yagambye nti ababiri kw’abo abana baludde nga bakwatibwa mu buli musango oguba guzziddwa nga babaggulako emisango egy’enjawulo omuli okukweka emmundu, obutujju, okulya mu nsi olukwe n’okukibassaako nti baali bayeekera mu ADF, kyokka oluvannyuma nga kkooti zibayimbula ng’obujulizi tebumatiza.

Wadde abasibe abasinga bwe batwalibwa mu kkooti ne basindikibwa ku limanda tebazzibwa mu buduukulu bwa poliisi, kyokka bano tebaatwaliddwa Luzira nga bwe kyabadde kisuubirwa.

Baatwaliddwa Kireka ku Special Investigations Unit (SIU) era gye babakuumira kati.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga AIGP Asan Kasingye yagambye kino tekimenya mateeka era kikolebwa ku bantu be bakyanoonyerezaako ku misango eminene ennyo nga waliwo ne bannaabwe abatannakwatibwa n’awa ekyokulabirako kya Jamil Mukulu eyali akulira ADF bwe baamusibira e Nalufenya nga kkooti y’e Jinja emusindise ku limanda.

Yagambye nti poliisi erina ebifo bibiri bye baatongoza ebisobola okusibirwamu abasindikiddwa ku limanda okuli Kireka ku SIU ne Nalufenya we baasibira n’Omusinga Charles Wesley Mumbere nga naye kkooti emaze okumusindika ku limanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...