TOP

Ebimuli bye baasimba ku jjajja byamutabula

Added 30th April 2017

OMUTI , taata gwe yatema amatabi ne gagwa ku malaalo ga jjajja Fenekansi Kyaddobo Male gaamutabula n’adda n’aηηamba lwaki omukwano gwe ngusuulirira ne simufaako nga bamutisse ebiti, bwatyo Richard Kato Nsereko ow’e Kazinga Luweero bw’anyumya ku jjajjaawe.

 Omugenzi Male. Ku ddyo, ye Kato anyumya ku jjajjaawe.

Omugenzi Male. Ku ddyo, ye Kato anyumya ku jjajjaawe.

BYA MABEL NAKABUGO
 
OMUTI , taata gwe yatema amatabi ne gagwa ku malaalo ga jjajja Fenekansi Kyaddobo Male gaamutabula n’adda n’aηηamba lwaki omukwano gwe ngusuulirira ne simufaako nga bamutisse ebiti, bwatyo Richard Kato Nsereko ow’e Kazinga Luweero bw’anyumya ku jjajjaawe.

Agamba:

Jjajjange Fenekansi Kyaddobo Male yafa mu 2000 ne tumuziika e Luweero ku kyalo Kazinga okumpi ddala n’awaka we twali tubeera.

Yali mukwano gwange bya nsusso nga talina ky’afuna n’atampita. Nga wayise emyaka musanvu bukya jjajja afa, yadda ng’aηηamba okumusuulirira ne simufaako nga n’ebiti byali bimunyiga.

Olumu mu 2007 , taata Christopher Ssetuba ng’ali n’omu ku baganda bange baatema omuti gw’omuyembe ogwali okumpi n’ebiggya bya jjajja, amatabi agamu ne gagwa ku malaalo ge.

JJAJJA ANZIJIRA OLW’OMUTI

Nga wayise ennaku ssatu nga taata atemye omuti nnali nneebase ηηenda okulaba nga jjajja ajja atambula mu kkanzu ye gye yalinga atera okwambala ng’akyali mulamu era bwe yatuuka we nali n’atuula emitwetwe n’asirika ng’antunuulidde naye ng’alabika nti munakuwavu.

Yavaamu eddoboozi nga lya nnaku n’aη− ηamba nti, ‘Muzzukulu nkwegayiridde gamba kitaawo anzigyeko omuti gwe yatema gunnyiga.’

Olwamala okwogera ebigambo bino ssaddamu kumulaba. Enkeera saalinda na budde kukya, nazuukuka ssaawa 11:00 ne ηηenda ewa taata ne mmutegeeza bye naloose era obudde olwakya ne tugenda ku biggya ne tuggyawo omuti.

AKOMAWO KU NSIKO

Muganda wange Eddy Kawuma mu 2008 yasimba omuddo gwa paasikalamu n’ebimuli ku biggya nga kuno kwe kuli n’ewa jjajja Fenekansi nga ky’agenderedde walabike bulungi.

Mu 2010 omuddo nga gukutte bulungi nga n’ebimuli bikuze bulungi mu kiro ekimu, naloota nga jjajja aηηamba nti ensiko emuyitiriddeko asusse okusula mu nsiko nkwatagane n’abantu abalala tumutaase.

Eky’amazima tewaali nsiko era bwe nagenda ne ntegeeza taata ku makya byonna bye naloose, yakubira muganda waffe Kawuma essimu.

Ono ye yali yakuliramu okusimba omuddo n’ebimuli n’amutegeeza bye naloose era n’atulagira nti bwe kiba bwe kityo paasikalamu n’ebimuli tubiggyewo kuba kirabika omugenzi yali tabyagadde. Taata bwe yava ku ssimu ne tugenda mu nnimiro ne tulimawo wonna ne watangaala bulungi.

Mu kiro ekyo kyennyini naloota jjajja ng’anneebaza okutuusa obubaka nti awulira emirembe twamuwonyezza ensiko.

Enkeera era nagamba taata bye naloose ne yeewuunya n’agamba nti wabula abantu bafa mibiri naye basigala ku nsi nga balaba ebigenda mu maaso. Bino nabikakasirizza ku jjajjange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...