TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Enkumbi obukadde 18 ezaasuubizibwa Pulezidenti, mu bajeti bataddemu kakadde 1

Enkumbi obukadde 18 ezaasuubizibwa Pulezidenti, mu bajeti bataddemu kakadde 1

Added 2nd May 2017

KU nkumbi obukadde 18 Pulezidenti Museveni ze yasuubiza Bannayuganda mu kampeyini za 2016, Minisitule y’Ebyobulimi eteekateeka okusooka okugulayo enkumbi akakadde kamu mu bajaeti ejja bazigabire amaka ga Bamufunampola.

Pulezidenti Museveni yali alagidde mu kampeyini nti ssente ez’okugula enkumbi obukadde 18 zissibwe mu bajeti ey’omwaka guno 2016/17 kyokka ssente tezissiddwaamu, nga kati mu bajeti eja ey’omwaka 2017/18, mussiddwamu obuwumbi 21 okugula enkumbi akakadde kamu ne tulakita 167.

Minisita w’Ebyobulimi, Vincent Sempijja yategeezezza ababaka b’akakiiko k’Ebyobulimu nti enkumbi akakadde kamu zaakugabira amaka ga bamufunampola nga buli maka gaakufuna enkumbi emu.

Pulezidenti Museveni yali alagidde mu kampeyini nti enkumbi obukadde 18 bwe zinaagulibwa, zigabanyizibwe mu maka obukadde mukaaga, buli maka gaali gaakufuna enkumbi ssatu.

Enkumbi emu eggula 10,000 mu maduuka agatunda lejjalejja, ekitegeeza nti enkumbi akakadde kamu zigenda kuwemmenta obuwumbi 10, ensimbi ezisigaddewo ku buwumbi 21 zikozesebwe mu kugula tulakita 167, ekitegeeza nti buli tulakita bagibaliridde okumalawo obukadde nga 68 wadde nga tulakita emu eggula ensimbi eziri wakati w’obukadde 120 ne 180.

Minisita Sempijja yategeezezza nti enkumbi akakadde akamu ezigenda okugulwa mu bajeti ejja ziri mu Pulogulaamu ey’okubunyisa enkumbi mu Bannayuganda abalimi n’agamba nti emyaka ettaano ez’ekisanja ‘Hakuna Muchezo’, we ginnaggwerako mu 20121, abalimi bonna abeetaaga enkumbi bajja kubeera nga babunye.

Mu nteekateeka ey’emyaka ettaano, Gavumenti esuubirwa okugula tulakita 4,000 ezisaasaanye mu bitundu bya Uganda byonna okulinnyisa obungi n’omutindo gw’Eb-yobulimi.

Yagamba nti tulakita 197 ezisooka zigenda kugabanyizibwa mu bibiina by’abalimi mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo.

ABABAKA BASABYE OLUKALA LW’AB’OKUFUNA KU TULAKITA

Ababaka abaakuliddwa ssentebe w’akakiiko ak’ebyobulimi, Lowila Oketayot (Mukazi Pader) baasabye Minisita Sempijja okubawa olukalala lw’ebibiina ebigenda okuganyulwa mu tulakita gavumenti z’egenda okugula wamu ne Tuylakita 40 ezaaguliddw gavumenti mu mwaka guno Ensimbi obuwumbi 21 ze zimu ku buwumbi 863 eza Bajeti y’Ebyobulimi empya ey’omwaka 2017/18 Minisita Sempijja gye yayanjulidde Palamenti.

BAJETI Y’EBYOBULIMI ERINNYE NAYE ERIMU EBTULI

Bajeti ya Minisitule ey’Ebyobulimi eyongeddwaako obuwumbi 40 n’obukadde 420 ng’erinnye okuva ku buwumbi 823 n’obukadde 420 ze yaweereddwa mu bajeti ya 2016/17 n’edda ku buwumbi 863 z’eweereddwa mu bajeti empya entandika nga July1, 2017.

Wabula Minisita Ssempijja yategeezezza ababaka nti wadde Bajeti ya Minisitule Ey’Ebyobulimi erinnyisiddwa, wakyaliwo obwetaavu bw’ensimbi naddala ku bintu ebyobugagga ebyawereddwa ssente entono n’ebimu ebitaaweereddwa ssente yadde.

Ssempijja yagambye nti wonna wamu, Minisitule ey’Ebyobulimi erina ekituli kya buwumbi 381 n’obukadde 420 okukola ku bintu ebitaweereddwa ssente zimala n’ebitaafuniddeko ddala ssente.

Yawadde ekyokulabirako nti beetaaga obuwumbi 12 okusobola okulwanyisa akawuka akalya kasooli akayitibwa Army Worm kyokka teziri mu bajeti ejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...