TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ebya Meddie Ssebaggala bibi! Enju ye e Kololo bagiboye

Ebya Meddie Ssebaggala bibi! Enju ye e Kololo bagiboye

Added 2nd May 2017

AMAKAMPUNI amalala abiri gasitukiddemu okutwala emmaali y’omugagga Meddie Ssebaggala lwa bbanja.

 Ekizimbe Ssebaggala kwe yali atadde edduuka ly’amasannyalaze e Kamwokya. Mu katono ye Ssebaggala

Ekizimbe Ssebaggala kwe yali atadde edduuka ly’amasannyalaze e Kamwokya. Mu katono ye Ssebaggala

Ssebaggala abadde tannakkakkana oluvannyuma lwa bbanka ya Stanbic okumutwala mu kkooti olw’ebbanja ery’akawumbi akamu, ate kkampuni ya Grofin Africa Fund Uganda Limited ne Equinox International Limited ne ziddukira mu kkooti nga buli emu eyagala okufuna olukusa okutunda ebintu bye naddala amaka amatiribona agasangibwa e Kololo.

Kkampuni ya Grofin Africa Fund Uganda Limited yabadde eteeseteese okutunda ku nnyondo ennyumba ya Meddie Ssebaggala ey’e Kololo ku Lwokutaano oluwedde nga April 28, 2017, kkampuni endala Equinox International Limited n’eddukira mu kkooti ng’esaba kkooti okuyisaawo ekiragiro ekiyimiriza Grofin Africa Fund Uganda Limited okutunda ennyumba ey’e Kololo kubanga nabo (Equinox International Limited) beetaaga okutunda ennyumba y’emu ey’e Kololo okununula ensimbi zaabwe obuwumbi bubiri n’obukadde 100 (2.1bn).

Kkampuni ya Equinox International Limited ng’eyita mu bannamateeka aba Lutaakome and Company Advocates baddukidde mu kkooti enkulu gye baatadde okusaba kwabwe nga April 18, 2017 okuyimiriza Grofin Africa Fund Uganda Limited okutunda ebya Ssebaggala.

Akulira Equinox International Limited, Ali Ssendijja mu bujulizi obuwandiike bwe yawadde mu kkooti yagambye nti singa Grofin Africa Fund Uganda Limited etunda ennyumba ya Meddie Ssebaggala ey’e Kololo, omusango gwabwe gwe baawawaabira Meddie Ssebaggala okubasasula 2.1bn gubeera tegukyalina makulu.

Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kkooti, kkampuni ya Equinox International Limited yali yawawaabira Meddie Ssebaggala nga April 5, 2017 ng’esaba olukusa okutunda ebyobugagga bye okuggyamu ensimbi zaabwe.

Ssebaggala, omu ku bammemba ba ‘Bagagga Kwagalana’ w’osomera bino ng’atuuse obutasigaza kantu. Bbanka ya Stanbic ye yasoose okusitukira mu Meddie Ssebaggala okumutwalako amayumba ge ag’ebbeeyi kw’asibidde olukoba olw’ebbanja lya kawumbi kamu n’obukadde 894 (1,894,737,670/-), ng’ate akyawanda mugagga munne olulusu Sudhir Ruparelia okumuwambako edduuka lye ggaggadde erya Ssebaggala and sons mu 2013.

Bbanka ya Stanbic ng’eyita mu bannamateeka baayo aba M/s Nangwala, Rezida & Co Advocates yagenze mu kkooti y’Ebyobusuubuzi, ng’eyagala okutunda ku nnyondo ennyumba za Meddie Ssebaggala ez’ebbeeyi ssatu okuli;

  • Amaka ag’ebbeeyi e Bbunga ku Kyadondo block 250 Plot 514.
  • Ennyumba ey’amaka e Kololo ku Plot 31 Mackenzie Vale
  • Ennyumba e Nsimbiziwoome e Bukuto ku Kyadondo Block 216 Plot 1827.

Wabula Ssebaggala yabadde akyekwanyakwanya okutaasa ennyumba ze, kkmpuni ezo ebbiri ne zisitula enkundi okumutwalako amaka ge e Kololo nga kigambibwa nti buli omu mw’asuubira okuggya ensimbi ezinaasasula amabanja.

Ebbanja lya Stanbic, Meddie Ssebaggala yalirya mu September 2008 lwe yasooka okwewola obuwumbi bubiri (2bn). Nga September 29, 2008 yaddamu ne yeewola akawumbi kamu n’obukadde 200 (1.2bn).

Mu kwewola ssente eza Stanbic, Meddie Ssebaggala yakkaanya n’aba bbanka okusasulanga 51,405,694/- buli mwezi okumala emyezi 192 nga ne ssente ez’amagoba bazibaliddeko.

Ssente ezo Ssebaggala yazeewola okuddaabiriza amayumba ago gonsatule. Bbanka ya Stanbic yaddukidde mu kkooti ng’eyagala okufuna olukusa okutundu ennyumba ezo okununula akawumbi kamu n’obukadde 894 ze bamubanja.

Bbanka ya Stanbic okuddukira mu kkooti ng’olwo kkampuni empozi ya ssente eya Grofin Africa Fund Uganda Limited yamala dda okulanga mu mpapula z’amawulire nti eteekateeka okutunda ennyumba ya Ssebaggala ey’amaka e Kololo ku Plot 31 Mackenzie Vale okununula ensimbi ezimubanjibwa.

MEDDIE SSEBAGGALA Y’ANI

Meddie Ssebbagala muto w’eyali meeya wa Kampala Alhaji Nasser Sebaggala ne Hajji Abbey Bbumba, bba w’eyali Minisita W’Ebyensimbi Hajjati Syda Bbumba ate nga mukulu w’omubaka Latif Ssebaggala owa Kawempe North mu Palamenti.

Omu ku bakyala be, ye Mariam Namayanja omukozi mu maka g’Obwapulezidenti. Ssebaggala yalina n’ekkolero lya payipu z’amasannyalaze e Ntinda.

EBIZIBU BYA SSEBAGGALA WE BYAVA

Amaze emyaka egisukka mu 35 mu bizinensi y’ebyamasannyalaze gy’azimbye empolampola n’etuuka ku ntikko. Mu 1990, Ssebaggala yafuna Abawarabu e Dubai abaamussaamu obwesige ne bamuwa ku bbanja ebintu eby’omutindo mu bungi ng’atunda n’alyoka asasula.

Wabula ku ntandikwa ya 2000, ebintu byamutabukako Abawarabu ne batuuka n’okujja kuno nga babanja Ssebaggala, enkolagana yaabwe n’efa.

Kino kyamukosa n’atadika okusuubula e China. Ku nkomerero ya 2012, ab’ekitongole ky’omutindo mu ggwanga (UNBS) baayaza edduuka lye ne bazuulamu ebintu bya ‘kanaggweeramu eyo’ ne kimuttira akatale.

Ensonda zaategeezezza nti obuzibu obulala we buvudde, nti yassa ssente mpitirivu mu kkolero lya payipu z’amasannyalaze n’edduuka lye eddala eritunda amataala e Kamwokya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Poliisi eyongedde Cheptegei...

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa...

Abagoberezi ba Paasita Yiga...

Abagoberezi ba Paasita Yiga Mbizzaayo beeyiye ku ddwaaliro e Nsambya okukakasa oba ddala kituufu omutuufu waabwe...

Emiranga n'ebiwoobe bisaani...

Emiranga n'ebiwoobe bisaanikidde ekkanisa y'omusumba Yiga eyavudde mu bulamu bw'ensi. ...

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...