TOP

'Twetaaga obuwumbi 62 okuliisa abasibe'

Added 2nd May 2017

EKITONGOLE ky’amakomera kyanjudde bajeti yaakyo mu Palamenti nga kyetaaga obuwumbi 62 n’obukadde 783 okuliisa abasibe 57,336 abaggaliddwa mu makomera 251 okwetooloola Uganda.

 Akulira amakomera Dr. Byabashaija ng’ayogera eri abasibe e Mbale.

Akulira amakomera Dr. Byabashaija ng’ayogera eri abasibe e Mbale.

Wabula ensimbi ezo, ab’ekitongole ky’amakomera tezibaweereddwa mu bajeti ya 2017/18.

Gavumenti eteekateeka kubawa obuwumbi 28 n’obukadde 419 zokka.

Minisita w’Ensonga ezoomunda Gen. Jeje Odongo ye yajanjulidde Palamenti bajeti y’ekitongole kino.

Bajeti y’ekitongole ky’amakomera empya yonna awamu ya buwumbi 185 n’obukadde 795 ng’erinnyisiddwa okuva ku buwumbi 178 n’obukadde 771 ekitongole kino (eky’amakomera) ze kyaweereddwa mu bajeti ya 2016/17.

Ab’ekitongole ky’amakomera beemulugunyizza nti bajeti yaabwe eri wansi nnyo bw’ogeraageranya ku byetaago by’ekitongole kino naddala okuliisa, okujjanjaba, okutambuza, okusuza n’okukola ku mbeera z’abasibe 57,336.

OKULIISA ABASIBE KUKALUBYE

Ku nsimbi obuwumbi 185 n’obukadde 795, kwe balina okutoola obuwumbi 7 n’obukadde 605 ez’okusasula amabanja amakadde. Ekitegeeza nti balina kukolera mu bajeti ya buwumbi 178 n’obukadde 191.

Ab’amakomera baategeezezza nti beetaaga obuwumbi 34 n’obukadde 364 okuziba ekituli ku bajeti ey’okuliisa abasibe kubanga beetaaga obuwumbi 62 n’obukadde 783 nga buli musibe bamubaliridde okulya 3,000/- olunaku.

Bbiiru z’amasannyalaze n’amazzi, ab’amakomera baagambye nti zibatudde mu kifuba nga mu bajeti ejja beetaaga obuwumbi 15 n’obukadde 77 ez’amazzi n’obuwumbi 8 n’obukadde 666 ez’amasannyalaze.

Kyokka mu bajeti baaweereddwa obuwumbi 8 n’obukade 50 ez’amazzi n’obuwumbi 3 n’obukadde 704 ez’amasannyalaze.

OMUJJUZO MU MAKOMERA

Amakomera 251 okuli ne Luzira gaazimbibwa nga gasobola kubeeramu abasibe 16,612 gonna awamu.

Kyokka December 2016 we gwatuukidde, ng’abasibe abali mu Uganda bali 51,882. Kino kitegeeza nti abasibe 35,270 tebalina we bakuumirwa wabula beenyiga mu basibe abalala olwo omujjuzo mu makomera ne gusukka.

Kino ab’amakomera bategeezezza nti kibatadde mu kattu okuliisa, okusuza, okujjanjaba n’okulabirira abasibe abo. Okusobola okukendeeza ku mujjuzo, ab’amakomera bateekateeka okuzimba amakomera amanene ataano (3) ku buwumbi 3 n’obukadde wabula ssente zino mu bajeti teziriimu.

Okusoomooza okulala ab’ekitongole ky’amakomera kwe balina mu bajeti ejja, ze ssente entono ze baaweereddwa okuddaabiriza amakomera 251 nga mu kifo ky’ensimbi akawumbi kamu n’ekitundu, baaweereddwa obukadde 914 zokka!

BAAGALA OBUWUMBI 7 OKWEGULA MU TTAKA LW’OBWAKABAKA

Ekitongole ky’amakomera kyategeezezza nti kyetaaga obuwumbi musanvu n’obukadde 500 okusasula Obwakabaka bwa Buganda ensimbi ez’ettaka okuli amakomera ag’enjawulo.

Baagambye nti ku makomera 251 agali mu Uganda, amakomera 79 gali ku ttaka lya Bwakabaka, amakomera 40 gali ku ttaka lya disitulikiti n’amakomera 130 gali ku ttaka lya Uganda Land Commission.

Okusobola okwegula ku ttaka ery’Obwakabaka, ekitongole ky’amakomera kyetaaga obuwumbi 7 n’obukadde 500 kyokka baaweereddwa obukadde 345 zokka nga balina ekituli kya buwumbi 7 n’obukadde 155.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....