TOP

Omukazi alidde ez'akameeza bba n'amukuba n'amutta

Added 2nd May 2017

OMUSAJJA asambye mukyala we owoolubuto n'amutta oluvannyuma lw'okumulekera ssente z'okugula emmere n'amusanga nga tafumbye.

Robinah Namatovu 26, abadde n'olubuto lwa myezi ena, bba Abdul Njuki 40, yamulekedde 7,000/- ez'okugula emmere n'azinywamu omwenge era ng’amusanze mu bbaala.

Omugenzi bw’alabye bba n’agezaako okudduka n'amugoba n’amusimula engwala n’agwa wansi olwo naye n’amwesuulako oluvannyuma n’amusambasamba mu ndira nga bw’amukuba n'ebikonde n’amugonza.

Bino byabadde mu Masozi Zooni e Bukasa wiiki ewedde. Njuki mutemi wa nnyama mu lufula y’e Bugoloobi.

Kigambibwa nti Namatovu yatandise okusinda ng'alaajana nti, “nfa munnyambe’, abatuuze ne bakaka bba amutwale mangu mu ddwaaliro era baasookedde Naggulu ne bamugoba ne beeyongerayo e Mulago.

Ku Lwomukaaga Namatovu yalongooseddwa n'aggyibwamu olubuto wabula embeera ne yeeyongera okutabuka n'afa ku Ssande.

Jesica Nabukeera mukwano gw'omugenzi agamba nti, yayisiddwa bubi nnyo mu lubuto era Njuki eyabadde amuliko ku kitanda e Mulago bwe yazzeeyo okubika ku kyalo abatuuze ne bamukwata ne bamukwasa poliisi e Bukasa.

Njuki abadde alina omwana wa myaka ena mu Namatovu era olubuto lwabadde nalwo nga ye mwana gw’agenda okuzzaako.

Kigambibwa nti Njuki alina omukyala owookubiri mu kitundu ky'ekimu.

Namatovu yaziikiddwa Lwamata mu Kiboga . Monica Namutebi omutuuze agamba nti Namatovu bulijjo bba abadde amukuba kyokka olw'okubeera ne muggya we okumpi nga tayagala kulaga nti baalwanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...