TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyavudde mu kafubo ka Bujingo n'abasumba ku by'okwokya Baibuli

Ebyavudde mu kafubo ka Bujingo n'abasumba ku by'okwokya Baibuli

Added 4th May 2017

OLUTALO lwa Paasita Aloysious Bujingo ku by’okwokya Bayibuli luwalirizza abasumba abamu okumusisinkana.

 Paasita Kayiwa ne Bujingo

Paasita Kayiwa ne Bujingo

Baakulembeddwa Joshua Lwere akulira ekibiina ekigatta amakanisa g’Abalokole mu Uganda ekya National Fellowship for Born Again Pentecostal Churches (NFBAPC) ne beesitula okugenda ewa Bujingo ne boogera naye mu kafubo akaatutte essaawa eziwera.

Bujingo yeegaanye eby’okwokya Bayibuli wabula n’akiggumiza nti mulimu ennyiriri ezaggyibwa mu Bayibuli ezimu era n’abasaba bamwegatteko mu kulwanyisa Bayibuli ezifulumizibwa ensangi zino nga ziggyiddwaamu ennyiriri olw’ebigendererwa ebitamanyiddwa.

Bakkaanyizza bafune abakugu mu kutaputa Bayibuli nga buli we basanga ebibuuzo, bayingizaamu abakugu ne bawa ennyinnyonnyola okwewala ekyatuuseewo bwe baalabye obutambi obulaga Bayibuli ezookebwa.

Ebigambo ebigambibwa okubeera ebya Bujingo ebiri mu katambi akasaasaana nga bigamba nti; “Zino bayibuli za kwokya , naawe atali ‘strong’ nga tolina ky’ogenda kuyigirizaako balala gyokye. Bw’oba olina Bayibuli ng’ejjudde ‘ghosts’ ya kwokya.

Ate n’essaala egamba nti ‘Holy Ghost’ nayo mbi nnyo” nabyo baabituuseeko, kyokka Bujingo n’abasaba baleme kugendera ku bye balaba ku yintaneti kubanga abantu baddira ebigambo bye ne babikyusakyusa nga bakozesa kompyuta (Editing) okusiiga ekifaananyi nti ye yayokya Bayibuli, ky’awakanya.

Abaagenze ewa Bujingo kwe kuli n’Omusumba Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Felloship.

Bwe yabadde ayogera ne Bukedde, Kayiwa yategeezezza nti ekkanisa ya Yesu egatta abantu bonna temuli bya kusosola mu bantu.

Yagambye nti ye dokita mu by’eddiini , “nkimanyi nti omuntu osobola okumuyamba nga kitaawe.

Yesu tasosola wabula azimba abantu bonna era nze ngoberera Yesu azimba abantu nga kitaabwe,” Kayiwa bwe yannyonnyodde.

Bino nga tebinnaba kubeerwawo, Kayiwa yasoose kuvaayo n’asaba Bannayuganda okusonyiwa Bujingo, ng’agamba nti okwokya Bayibuli yali akikoze mu butamanya.

Yasaba Basumba banne okusooka okukolanga okunoonyereza nga tebannaba kwogera ku nsonga yonna, kuba balina ababagoberera.

Kayiwa yagenze ne ku kkanisa ya Bujingo eya House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni n’alinnya akatuuti n’akuutira abagoberera Yesu okutabagana n’okubeera obumu lwe banaasobola okubunyisa ekigambo kya Katonda.

Lwere ng’ayogera ku byabadde mu kafubo yategeezezza Bukedde nti: Twamusisinkanye ne tumubuuza ku by’okwokya Bayibuli n’abyegaana. Buli ludda lwawadde lunnaalwo obudde okunnyonnyola, buli omu asobole okutegeera ensonga za munne. Twamutegeezezza nti singa wabeerawo ennyiriri z’atakkaanya nazo mu Bayibuli abeera alina okutuwa omukisa tukinnyonnyole kubanga tulina abakugu mu kutaputa ebyawandiikibwa.

Omutume Alex Mitala yategeezezza nti Bayibuli etegeeza nti bw’owulira ekigudde ku muganda wo ogendayo ne mwogera era okusituka okugenda ewa Bujingo kyakoleddwa mu mutima ogwo ogw’ebyawandiikibwa.

Yajulizza mu Matayo (18:15-17) “Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo. 16 Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate. 17 Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.

ABAWAKANYA BUJINGO BALINZE SERWADDA BASALEWO EKIDDAKO:

Abawakanya Bujingo okuli Pasita Michael Kyazze owa Omega Healing Centre e Namasuba ne David Kiganda owa Christianity Focus Centre mu Kisenyi, Olwomukaaga oluwedde baategese okulaga obutali bumativu bwabwe ku nsonga z’okwokya Bayibuli kyokka Kiganda yategeezezza nti enteekateeka baazongezzzaayo balindeko Joseph Serwadda akomewo.

Kyazze n’abagoberezi be baalaze obutali bumativu ne bakwata ebipande ebivumirira okwokya Bayibuli. Kyazze yagambye nti bo balowooza nti singa omuntu abeera ng’aliko ky’atakkaanya nakyo mu Bayibuli okugyokya abeera tagonjodde kizibu.

“Tuvumirira yenna eyakikoze eky’okwokya Bayibuli, byalabikidde mu mawulire nga Bujingo abyegaana naye katulinde Dr. Serwadda akomewo”, Kyazze bwe yagambye ng’ajuliza Serwadda ali ebweru w’eggwanga.

BUJINGO ALANGIRIDDE ABASUMBA ABALUNGI GY’ALI:

Yasinzidde mu kusaba ku kkanisa ye wiiki ewedde n’agamba nti bano be bamu ku Basumba abaasigalamu ensa, kuba abasinga bamala gabuubuuka na bigambo.

OMUTUME ALEX MITALA; yamwogeddeko ng’omuntu gwe yeegomba okuva edda, era yanyumirwanga nnyo okumuwuliriza ng’abuulira. Yagambye nti mu kiseera kino bali bumu era baamaze dda n’okukola entegeka ne Mitala amuwe pulogulaamu ya ssaawa nnamba buli lunaku lu leediyo ye eya Salt nga tamusasuzza wadde ekikumi.

Abalala be yanokoddeyo ng’Abasumba abatalina mutawaana kuliko Lwere, Kayiwa ne Peterson Mutebi.

Bujingo yatadde akaka n’ategeeza nti basumba banne abatamwagaliza baali bamugguddeko olutalo nga bamwawudde ku buli muntu mu kaweefube w’okumulaga ng’omuntu omukyamu.

Yagambye nti okuva lw’akwataganye n’abasumba abo waggulu, ate kati agenda kubuulira enjiri buli muntu yeewuunye kuba kati afunye banne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...