
Kim Jong Un n’abajaasi be
Bbomu nnamuzisa eza “Nuclear”, Amerika yazikuba Japan nga August 6, 1945, ennyonnyi ya Amerika eya B-29 Bomber bwe yasuula bbomu (Atomic bomb) ku kibuga Hiroshima n’oluvannyuma nga wayise ennaku ssatu nga August 9, 1945, ennyonyi y’emu n’esuula bbomu endala ku kibuga Nagasaki, ebibuga byombi ne bituula ku ttaka, abantu 90 ku 100 abaabirimu ne bafa mu ntiisa.
Bino biddiridde Japan okuyungula emmeeri ennwaanyi eyitibwa Izumo ng’eriko ffuuti 800 okugenda mu kitundu ekya Korean Peninsula okwegatta ku kibinja ky’emmeeri za Amerika ‘Armada’.
Katikkiro wa Japan Shinzo Abe, yagambye nti North Korea si kizibu kya Amerika yokka wabula n’amawanga agali mu kitundu n’ategeeza nti Japan eri wamu ne Amerika mu kaweefube ow’okugolola North Korea ne Pulezidenti waayo Kim Jong Un ettumba.
PUTIN AYINGIDDEMU
Pulezidenti wa Russia, Vladimir Putin naye yasoose kulambula amagye ge n’abalagira bategeke okuweereza ku nsalo ya North Korea era n’agazzaamu amaanyi.
Russia yagasse eddoboozi lyayo ku lya North Korea mu kulabula Japan obuteeyingiza mu lutalo olutali lwayo kubanga ebisago by’enaalufuniramu biyinza okugitwalira ebbanga okudda engulu.
Emmeeri ya Japan Izuma yasimbuddwa okuva mu mwalo gw’e Yokosuka mu bukiikaddyo bwa Tokyo, n’etandika okuseeyeeya olugendo lwa mayiro 400 okwolekera Korean Peninsula.
Izuma yasitudde nga yeetisse nnamunkanga mwenda ennwaanyi wamu n’ebyokulwanyisa ebyomulembe okuli Mizayiro n’emizinga eminene.
Japan ebadde yayisa etteeka ery’obutadda mu lutalo lwonna okuggyako ng’erumbiddwa kyokka gavumenti ya Katikkiro Abe eyagala kuggyawo tteeka eryo liggyibwawo, eddemu okwenyigira mu ntalo ku lw’obulungi bw’ensi yonna.