TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Stella Nyanzi yeeyimiriddwa ku bukadde 10: Ayimbuddwa

Dr. Stella Nyanzi yeeyimiriddwa ku bukadde 10: Ayimbuddwa

Added 10th May 2017

Dr. Stella Nyanzi kyaddaaki yeeyimiriddwa : Ayimbuddwa kati alya butaala

 Dr. Stella Nyanzi ng'ayambibwako abaserikale b'amakomera okugenda mu kaguli ka kkooti. EKIF: MARTIN NDIJJO

Dr. Stella Nyanzi ng'ayambibwako abaserikale b'amakomera okugenda mu kaguli ka kkooti. EKIF: MARTIN NDIJJO

Dr. Stella Nyanzi kyaddaaki ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy'amaze omwezi mulamba lwa kweyambisa omukutu gwe ogwa 'Facebook' n'avvoola Pulezidenti Museveni.

Nyanzi aleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road ng'abaserikale b’amakomera bamukwatiridde oluvanyuma lw’okulumbirwa omusujja gw'ensiri, alagiddwa okusasula obukadde 10 ng’omusingo okukakasa nti ajja kukomawo mu kkooti lw'anaaba yeetaagibwa.

Omulamuzi era alagidde ebitongole by'amawulire obuddamu kukyaza Nyanzi n'ekigendererwa ky'okumubuuza ebikwatagana ku musango, n'agamba nti kino kimenya mateeka.

Wabula wabaddewo okutya mu bawagizi be olw'amawulire agayiting'anye nti bagenda kumukwatira ku kkooti bamuvunaane emisango emipya.

Nyanzi olumuwadde empapula ezimukkiriza okuyimbulwa, atambulidde mu mmotoka ya mikwano gye wabula nga tanyega kigambo kyonna okuggyako okumwenyamwenya.

Nyanzi yavunaanibwa omusango gw’okuvvoola ekitiibwa kya Pulezidenti Museveni bwe yeeyambisa omukutu gwe ogwa Facebook n'amugeraageranya mu butuuliro/akabina (buttocks).

Ebirala ku Nyanzi...

Dr. Stella Nyanzi asindikiddwa Luzira

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu