TOP

Gavt. eyimirizza okusasula ba landiroodi

Added 11th May 2017

GAVUMENTI eyimirizza okufulumya ssente mu nsawo y’ettaka gye yateekawo okufunira abantu ebyapa (Land Fund) okutuusa nga bamalirizza okusasula abo abaateekayo okusaba okwasooka.

 Baguma Isoke akulira akakiiko k’ebyettaka mu ggwanga.

Baguma Isoke akulira akakiiko k’ebyettaka mu ggwanga.

Akulira Uganda Land Commission, Baguma Isoke yabyogeredde mu kakiiko akakulirwa Omulamuzi Catherine Bamugemereire, akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka mu Uganda.

Isoke yategeezezza nti, abantu abasabye Gavumenti ebawe ssente mu ttaka lyabwe okuli abasenze bagenze okugwetegereza nga kati ssente ez’okubasasula ziweze obuwumbi 200.

Wano we yategeerezza nti minisitule y’ebyensimbi bwe yalabye ng’omuwendo gulinnye okutuuka wano ne bamuwandiikira nga bamulagira okuyimiriza okukwata empapula z’abo abapya abasaba basooke bakole ku by’okusasula bano abaasooka.

Munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya bwe yabuuzizza Isoke emitendera gye bayitamu okusunsula abantu abaganyulwa mu nteekateeka eno era n’amusaba ategeeze akakiiko omuwendo gw’abantu abaakaganyulwa mu nteekateeka eno.

Isoke yasoose kunnyonnyola nga yeetoloola nti abantu basaba busabi bwe baamusabye okuleeta ebiwandiiko ebiraga abaganyuddwa n’ategeeza nti yeetaaga okuddayo asooke akebere mu fayiro.

Yasabye bamuwe ennaku 30 yeetereeze kyokka Omulamuzi n’amulagira akikole mu nnaku 14 zokka aleete ebiwandiiko ebyamusabiddwa.

Ebiwandiiko bye bamulagidde okuleeta kuliko ebiraga omuwendo gw’abantu abaganyuddwa mu ‘Land Fund’ ne bafuna ebyapa, ebiraga ettaka lya Gavumenti lye bagabyeko liizi.

Isoke yategeezezza Omulamuzi nti akakiiko ke kalina abakozi batono nnyo okusinziira ku mirimu egiriwo.

Bali abakozi 22 abalina okukola mu Uganda yonna ate ku bo kuliko abakugu mu by’ettaka babiri bokka, n’asaba kasembe bongere ku muwendo gw’abakozi waakiri bawere 80.

Yagambye nti ettaka lya Gavumenti ebitundu 50 ku 100 tebalipuntanga era teririiko byapa biraga we lisangibwa.

Dr. Tom Okrut akulira NEMA yategeezezza nti be bakkiriza abantu okusima omusenyu mu Lwera kyokka waliwo abasima nga tebalina lukusa.

Yagambye nti NEMA tekikkirizangako muntu yenna kusima musenyu mu nnyanja ate okusinziira ku biwandiiko bya URA tewali atunda musenyu gwa Uganda ebweru.

Kyokka yagambye nti obuzibu bwe basinze okusanga waliwo abantu abafuna ebyapa mu ntobazzi n’ebifo bye baataliza nga n’ekyewuunyisa waliwo be basanga nga bagamba nti baafuna ebyapa ku nnyanja.

Akulira ekitongole ky’ebibira Michael Mugisa ye ategeezezza akakiiko nti balina ekizibu ky’abantu abeesenza mu bibira ate abalala bajingirira ebbaluwa ze bagamba nti ziva mu ofiisi ya Pulezidenti ne basala emiti mu bibira.

Yasabye akakiiko kasembe bateekewo kkooti ewozesa emisango gy’obutonde bw’ensi.

Abakulembeze b’Abagisu nabo bazze nga beemulugunya ku ttaka lyabwe eryatwalibwa Kakungulu n’abeebibira babatulugunya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...