TOP

Omukuumi akubye munne amasasi n'amutta

Added 12th May 2017

Poliisi y’e Mukono etandise omuyiggo gw’omukuumi eyavudde mu mbeera n’akuba munne essasi n’amutta.

 Bambega ba poliisi nga beekebejja omulambo gwa Okiira (mu katono wansi) ku buliri kwe baamuttidde.

Bambega ba poliisi nga beekebejja omulambo gwa Okiira (mu katono wansi) ku buliri kwe baamuttidde.

Peter Odome y’agambibwa okukuba Augustine Okiira amasasi agaamusse ku Lwokuna ku makya ssaawa nga 12:30.

Ababiri bano nga bakolera kkampuni ya G-Unit Security (GUS) babadde bakuuma ku ssundiro ly’amafuta erya Igar e Kawuga mu munisipaali y’e Mukono.

Poliisi ng’ekulemberwa akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi mu divizoni y’e Mukono, Ibrah Batasi yatuuse ne basajja be ne yeekebejja omulambo gwa Okiira n’ekifo kyonna.

James Tumwebaze, omu ku bakuumi eyakoze ne Odome ekiro yategeezezza nti yawulidde essasi nga livugira gye basula yagenze okutuukayo nga Odome asuddewo emmundu n’adduka.

Ate Dan Amusing nga naye mukuumi yategeezezza nti yabadde mu kiyigo yagenze okudda nga Odome adduse ate nga Okiira ali ku buliri yafudde dda.

Agnes Banzi Wairagala omu ku bakulu abatwala kkampuni ya G-Unit Security yagambye nti, “Baηηambye nti ababiri bano baafunye oluyombo eggulo akawungeezi Okiira n’ajja okukola ate bw’azzeeyo ng’alina okuwa Odome emmundu, olugimuwadde n’agenda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ekiragiro ky'okusengula aba...

Abattakisi bagamba nti tebajja kukkiriza kuvaawo okuggyako ng’ebyabaggya mu ppaaka bimaze okugonjoolwa okuli enguudo...

Omusumba Ssennyonga mu lukiiko lwa bannamawulire.

Ssennyonga yeeyamye okuyamb...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga owa Christian life church e Bwaise asabye abakazi bonna abalina abaana b’omugenzi...

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...