TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abasirikale ba poliisi abaatulugunyizza Meeya w'e Kamwenge nga bamuteebereza okutta Kaweesi bakwatiddwa: Abadde avunze!

Abasirikale ba poliisi abaatulugunyizza Meeya w'e Kamwenge nga bamuteebereza okutta Kaweesi bakwatiddwa: Abadde avunze!

Added 12th May 2017

Abasirikale ba poliisi abaatulugunyizza Meeya w’e Kamwenge nga bamuteebereza okutta Kaweesi bakwatiddwa: Abadde avunze!

 Byamukama ng'apooca n'ekiwa

Byamukama ng'apooca n'ekiwa

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, AIGP Asan Kasingye avuddeyo ku bya Geofrey Byamukama, Meeya w’e Kamwenge apooca n’ebiwundu eby’amaanyi mu ddwaaliro e Nakasero ku bigambibwa nti yatulugunyizibwa abasirikale ba poliisi nga bamuteebereza okwenyigira mu lukwe lw’okutta AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Kasingye agamba Byamukama abasirikale abaamukwata baamusanga ku ofiisi za Minisitule y’eby’ettaka mu Kampala nga 5/04/ 2017 mu kanyoolagano ne bamutwala e Jinja mu kifo ky’okumutwala ku kitebe kya poliisi e Naggulu nga bwe baali bamugambye nga bamukwata.

Byamukama yafuna obuvune n’ebiwundu eby’amannyi, embeera eyaviirako poliisi okumutwala mu ddwaaliro ly’e Nakasero gy’amaze ebbanga ng'ajjanjabibwa.

Kasingye era akakasizza nti abasirikale babiri abeenyira mu kutulugunya Byamukama bwe baakwatiddwa era batandise okunoonyerezebwako ab’ekitongole kya poliisi ekivunaanyizibwa ku kukwasisa empisa.

Eggulo ku Lwokuna, ebifaananyi ebiraga Byamukama ng’ali ku kitanda mu bulumi obutagambika byasaasaanidde ku mikutu gya yintaneti nga biraga ebiwundu eby’amaanyi ku maviivi n’obukongovvule nga kigambibwa y’omu ku baatulugunyizibwa abasirikale mu kkomera e Nalufeenya.

Bino we bibereeddewo nga n’Abasiraamu abavunaanibwa ku by’okutta Kaweesi bamaze okwekubira enduulu ew’omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa ku nsonga y’emu ey’okutulugunyizibwa abasirikale e Nalufenya.

Wabula Kasingye agamba nga poliisi bakola ekisoboka okulaba nga bakuma eddembe lya buli muntu omuli n’abo abakwatibwa ku buzzi bw’emisango.

Kasingye era alabudde nti poliisi tegenda kubikkirira musirikale yeenyigira mu bikolwa by’okutulugunya abantu okuggyako okumuwaayo avunaanibwa nga ssekinnoomu wansi w’etteeka erikwata ku by’okutulugunya abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...