TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi alabudde kamyama avunaanibwa okufumita omusuubuzi eccupa n'amutta

Omulamuzi alabudde kamyama avunaanibwa okufumita omusuubuzi eccupa n'amutta

Added 16th May 2017

OMULAMUZI wa kkooti Enkulu alabudde Ivan Kamyuka, avunaanibwa okufumita munne eccupa n'amutta ng'amulanga kumutabula ne mukazi okwogeranga amazima kuba bw'atakikola kiyinza okukosa omusango gwe.

 Ahimbisibwe eyafiira mu ddwaaliro lya Case Medical Centre oluvannyuma lw'okufumitibwa Kamyuka eccupa. Ku ddyo, ye ne mukazi we Kamyuka ne muninkini we Nina Lyanuak

Ahimbisibwe eyafiira mu ddwaaliro lya Case Medical Centre oluvannyuma lw'okufumitibwa Kamyuka eccupa. Ku ddyo, ye ne mukazi we Kamyuka ne muninkini we Nina Lyanuak

Kino kiddiridde Kamyuka okwegaana nga bw'atabangako na looya kyokka omulamuzi Wilson Kwesiga bwe yeetegerezza ebiwandiiko n'akizuula nga biraga nti abadde ne balooya abamukiikirira.

Kamyuka abadde azze mu kkooti okusomebwa omusango gw'okutta Johnie Ahimbisibwe n'oludda oluwaabi okutandika okuleeta abajulizi kyokka omuwaabi wa Gavumenti, Brian Kalinaki n'ategeeza kkooti nti si mwetegefu kubanga talina fayiro yonna.

Kamyuka era agaanye looya wa gavumenti n'agamba nti agenda kwefunira owuwe mu wiiki 2.

Kamyuka avunaaibwa okufumita omusuubuzi Johnie Ahimbisibwe eccupa ng’amulumiriza okumutabula ne mukazi we Nina Lyanuak.

Kigambibwa baali bamaze akabanga nga bali mu kakuubagano era baatabukira mu bbaala ya Guvnor awali Angenoir n’amufumita eccupa John n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro lya Case Medical Centre mu Kampala mu August wa 2015. 

Kati omulamuzi Kwesiga alagidde Kamyuka akomewo mu kkooti omusango gwe gutandike okuwulirwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...